Makko Chapter 2

For English

Read Makko Chapter 2 Online

Read Makko Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Makko in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Makko and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Makko 2

Essuula 2

1. Awo ennaku bwe zaayitawo n'ayingira nate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nju.

2. Ne bakuŋŋaana bangi, n'okugyawo ne batagyawo nate newakubadde mu mulyango: n'ababuulira ekigambo.

3. Ne bajja abaaleeta omulwadde akoozimbye nga bamwetisse bana.

4. Naye bwe baalemwa okumusemberera olw'ekibiina, ne babikkula waggulu ku nnyumba we yali: ne bawummulawo ekituli ne bamussiza ku kitanda akoozimbye kwe yali agalamidde.

5. Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe n'agamba akoozimbye nti Mwana wange, ebibi byo bikuggiddwako.

6. Naye waaliwo abawandiisi abamu nga batudde nga balowooza mu mitima gyabwe nti

7. Ono kiki ekimwogeza bw'atyo? Avoola: ani ayinza okuggyako ebibi wabula omu, ye Katonda?

8. Amangu ago Yesu bwe yategeera mu mwoyo gwe nga balowooza bwe batyo munda yaabwe n'abagamba nti Kiki ekibalowoozesa ebyo mu mitima gyammwe?

9. Ekyangu kiruwa, okugamba akoozimbye nti Ebibi byo bikuggiddwako; nantiki okugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo ogende?

10. Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi n'agamba akoozimbye nti

11. Nkugamba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.

12. N'agolokoka, ne yeetikka amangu ago ekitanda, n'afuluma mu maaso gaabwe bonna; awo ne beewuunya bonna ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Tetulabangako bwe tuti.

13. N'avaawo nate n'agenda ku lubalama lw'ennyanja; ebibiina byonna ne bajja w'ali, n'abayigiriza.

14. Awo bwe yali ng'ayita, n'alaba Leevi omwana wa Alufaayo ng'atudde mu ggwoolezo, n'amugamba nti Yita nange. N'agolokoka n'ayita naye.

15. Awo bwe yali ng'atudde mu nnyumba y'oyo ng'alya, abawooza bangi n'abalina ebibi ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa be; kubanga baali bangi, abaagenda naye.

16. Abawandiisi ab'omu Bafalisaayo bwe baamulaba ng'alya wamu n'abalina ebibi n'abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti Alya era anywera wamu n'abawooza n'abalina ebibi.

17. Awo Yesu bwe yawulira n'abagamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde: sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.

18. Awo abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali nga basiiba; ne bajja ne bamugamba nti Kiki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo ekibasiibya, abayigirizwa bo nga tebasiiba?

19. Yesu n'abagamba nti Abaana b'obugole bayinza batya okusiiba awasizza omugole ng'ali nabo? mu biro byonna nga bali naye awasizza omugole, tebayinza kusiiba.

20. Naye ennaku zirituuka, awasizza omugole lw'alibaggibwako: ne balyoka basiiba ku lunaku olwo.

21. Tewali muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluggya ku kyambalo ekikadde; bwe kiba kityo kiri eky’oku kizibawo kikutula kiri, ekikadde ekiggya, ekituli ne kyeyongera.

22. Era tewali muntu afuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba enkadde: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo ez'amaliba, omwenge ne gufaafaagana n'ensawo ez'amaliba zoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo ez'amaliba empya.

23. Awo olwatuuka yali ng'atambula mu nnimiro ku lunaku lwa ssabbiiti; abayigirizwa be ne batanula okugenda nga banoga ebirimba.

24. Abafalisaayo ne bamugamba nti Laba, kiki ekibakoza eky'omuzizo ku lunaku lwa ssabbiiti?

25. N'abagamba nti Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yali nga yeetaaga, n'alumwa enjala ye n'abo be yali nabo?

26. Bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yali nga ye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwako wabula bakabona, n'agiwa ne be yali nabo?

27. N'abagamba nti Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu, so omuntu si ku lwa ssabbiiti:

28. bwe kityo Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti nayo.

About Makko Chapter 2

Read Makko Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Makko in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Makko
Chapter: 2
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Makko. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Makko Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Makko Chapter 2?

Makko Chapter 2 is part of the Book of Makko in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Makko Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Ebikolwa Chapter 28

Explore More from makko

  1. Makko Chapter 10
  2. Makko Chapter 8
  3. Makko Chapter 15
  4. Makko Chapter 12
  5. Makko Chapter 1
  6. Makko Chapter 7
  7. Makko Chapter 6

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 24
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 22
  3. Zabbuli Chapter 38
  4. Yeremiya Chapter 40
  5. Yobu Chapter 25
  6. Ezekyeri Chapter 35
  7. Isaaya Chapter 11
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *