Read Luusi Chapter 3 Online
Read Luusi Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Luusi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Luusi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Luusi 3
Essuula 3
1. Awo Nawomi nnyazaala we n'amugamba nti Mwana wange, siikunoonyeze kuwummula, obe bulungi?
2. Era kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba, awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro.
3. Kale naaba osaabe amafuta, oyambale ebyambalo byo, oserengete mu gguuliro: naye teweetegeeza eri omusajja oyo okutuusa lw'anaamala okulya n'okunywa.
4. Awo olunaatuuka bw'anaagalamira, wekkaanye ekifo mw'anaagalamira, naawe n'oyingira n'obikkula ebigere bye, n'ogalamira; naye anaakubuulira bw'onookola.
5. N'amugamba nti Byonna by'oyogedde naabikola.
6. N'aserengeta mu gguuliro, n'akola nga byonna bwe bibadde nnyazaala we by'amulagidde.
7. Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda okugalamira ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano: n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bye n'agalamira.
8. Awo olwatuuka mu tumbi omusajja n’atya ne yeekyusa era, laba, omukazi ng'agalamidde ku bigere bye.
9. N'ayogera nti Ggwe ani? N'addamu nti Nze Luusi omuzaana wo: kale bikka ekyambalo kyo ku muzaana wo; kubanga oli mununuzi wange.
10. N'ayogera nti Oweebwe Mukama omukisa, mwana wange: olaze ekisa ekisinga obungi enkomerero okukira olubereberye, kubanga togobereranga balenzi, oba baavu oba bagagga.
11. Ne kaakano, mwana wange, totya; naakukola byonna by'oyogera: kubanga ekibuga kyonna eky'abantu bange bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.
12. Era kaakano kya mazima nga nze mununuzi wo: naye waliwo omulala ansinga nze oluganda.
13. Beera wano ekiro kino, awo olunaatuuka enkya bw'anaakukolera emirimu egy'oluganda, kale, akole emirimu egy'oluganda: naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, kale nze ndikukolera emirimu egy'oluganda, nga Mukama bw'ali omulamu: galamira okeese obudde.
14. N'agalamira ku bigere bye okukeesa obudde: n'agolokoka omuntu nga tannayinza kwekkaanya munne. Kubanga yayogera nti Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.
15. N'ayogera nti Leeta omunagiro gw'oyambadde, ogukwate; n'agukwata: n'agera ebigero mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka: n'agenda mu kibuga.
16. Awo bwe yatuuka eri nnyazaala we, n'ayogera nti Ggwe ani, mwana wange? N'amubuulira byonna omusajja by'amukoledde.
17. N'amugamba nti Ebigero bino omukaaga ebya sayiri abimpadde; kubanga ayogedde nti Togenda eri nnyazaala wo nga tolina kantu.
18. N'alyoka agamba nti Tuula ng'osirika, mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamalawo ekigambo kino leero.
About Luusi Chapter 3
Read Luusi Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Luusi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Luusi
Chapter: 3
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Luusi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Luusi Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Luusi Chapter 3?
Luusi Chapter 3 is part of the Book of Luusi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Luusi Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 14
- Engero Chapter 13