Yeremiya Chapter 37

For English

Read Yeremiya Chapter 37 Online

Read Yeremiya Chapter 37 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yeremiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yeremiya 37

Essuula 37

1. Awo Zeddekiya mutabaai wa Yosiya n'afuga nga ye kabaka mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni gwe yafuula kabaka mu nsi ya Yuda.

2. Naye teyawuliranga bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya, ye newakubadde abaddu be newakubadde abantu ab'omu nsi.

3. Awo Zeddekiya kabaka n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'ayogera nti Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe.

4. Era Yeremiya yayingiranga n'afulumanga mu bantu: kubanga baali tebaanamuteeka mu kkomera.

5. Era eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizza Yerusaalemi bwe baawulira ebigambo byabwe, ne basaasaana okuva ku Yerusaalemi.

6. Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kyogera nti

7. Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eritabadde okubayamba liridda mu Misiri mu nsi yaabalyo.

8. Era Abakaludaaya balikomawo ne balwanyisa ekibuga kino; era balikimenya ne bakyokya omuliro.

9. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temwerimba nga mwogera nti Abakaludaaya tebalirema kutuvaako: kubanga tebalibavaako.

10. Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, era naye bandigolokose buli muntu mu weema ye ne bookya ekibuga kino omuliro:

11. Awo olwatuuka eggye ery'Abakaludaaya bwe lyamala okusaasaana okuva ku Yerusaalemi olw'okutya eggye lya Falaawo,

12. kale Yeremiya n’afuluma mu Yerusaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe eyo wakati mu bantu.

13. Awo bwe yali mu mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa yali ali eyo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti Osenga Abakaludaaya.

14. Awo Yeremiya n'ayogera nti Olimba; sisenga Bakaludaaya; naye n'atamuwulira: kale Iriya n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu.

15. Awo abakungu ne basunguwalira Yeremiya ne bamukuba ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi; kubanga gye baali bafudde ekkomera.

16. Awo Yeremiya bwe yatuuka mu nnyumba ey'obunnya ne mu buyu, era Yeremiya bwe yali ng'amaze ennaku nnyingi omwo;

17. awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'amukima: kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama? Awo Yeremiya n'ayogera nti Weekiri. Era n'ayogera nti Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni.

18. Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti Nali nkwonoonye mu ki oba abaddu bo oba abantu bano, n'okuteeka ne munteeka mu kkomera?

19. Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babulooni talibatabaala, newakubadde ensi eno?

20. Kale nno wulira, nkwegayiridde, ai mukama wange kabaka: okwegayirira kwange kukkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo.

21. Kale Zeddekiya kabaka n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva ku luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa.

About Yeremiya Chapter 37

Read Yeremiya Chapter 37 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yeremiya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yeremiya
Chapter: 37
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yeremiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yeremiya Chapter 37 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yeremiya Chapter 37?

Yeremiya Chapter 37 is part of the Book of Yeremiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yeremiya Chapter 37 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from Yeremiya

  1. Yeremiya Chapter 32
  2. Yeremiya Chapter 48
  3. Yeremiya Chapter 34
  4. Yeremiya Chapter 26
  5. Yeremiya Chapter 3
  6. Yeremiya Chapter 14
  7. Yeremiya Chapter 15

Related Chapters & Readings

  1. Abaggalatiya Chapter 2
  2. Zabbuli Chapter 2
  3. Okubala Chapter 25
  4. Isaaya Chapter 18
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 23
  6. Okubikkulirwa Chapter 4
  7. Ekyamateeka Chapter 24
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *