Amosi Chapter 1

For English

Read Amosi Chapter 1 Online

Read Amosi Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Amosi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Amosi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Amosi 1

Essuula 1

1. Ebigambo bya Amosi eyali ow'oku basumba b’e Tekowa, bye yalaba ebya Isiraeri mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri ng'ekyasigaddeyo emyaka ebiri okutuuka ku kikankano ky'ensi.

2. N'ayogera nti Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, era alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; kale amalundiro ag'abasumba galiwuubaala, n'entikko ya Kalumeeri eriwotoka.

3. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bisatu ebya Ddamasiko, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bawudde Gireyaadi n'ebintu ebiwuula eby'ebyuma:

4. naye ndiweereza omuliro mu nnyumba ya Kazayeeri, kale gulyokya amayumba ga Benukadadi.

5. Era ndimenya ekisiba kya Ddamasiko, ne mmalawo oyo abeera mu kiwonvu kya Aveni, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku nnyumba ya Adeni: n'abantu ab'e Busuuli baligenda mu busibe e Kiri, bw'ayogera Mukama.

6. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Gaza bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga batwala nga basibe eggwanga lyonna okubawaayo eri Edomu:

7. naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Gaza, era gulyokya amayumba gaakyo:

8. era ndimalawo abali mu Asudodi, n'oyo akwata omuggo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku Asukulooni: era ndikyusa omukono gwange okulwana ne Ekuloni, n'ekitundu ekifisseewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bw'a yogera Mukama Katonda.

9. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Ttuulo bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaako; kubanga bagabula eggwanga lyonna eri Edomu ne batajjukira ndagaano ey'oluganda:

10. naye ndiweereza omuliro ku bbugwe w'e Ttuulo, era gulyokya amayumba gaakyo.

11. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono bya Edomu bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaako; kubanga yayigganyanga muganda we n'ekitala, n'asuula okusaasira kwonna, obusungu bwe ne butaagulataagula ennaku zonna n'aguguba n'ekiruyi kye emirembe gyonna:

12. naye ndiweereza omuliro ku Temani, era gulyokya amayumba ag'e Bozula.

13. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Olw'ebyonoono eby'abaana ba Amoni bisatu, weewaawo, olw'ebina, sirikyusa kubonerezebwa kwabwe okubavaako; kubanga babaaze abakazi abali embuuto ab'e Giriyaadi, balyoke bagaziye ensalo yaabwe:

14. naye ndikuma omuliro mu bbugwe w'e Labba, era gulyokya amayumba gaakyo, nga baleekaana ku lunaku olw'olutalo, kibuyaga ng'akunta ku lunaku olw'embuyaga ez'akazimu:

15. era kabaka waabwe aligenda mu busibe, ye n'abakungu be wamu, bw'ayogera Mukama.

About Amosi Chapter 1

Read Amosi Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Amosi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Amosi
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Amosi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Amosi Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Amosi Chapter 1?

Amosi Chapter 1 is part of the Book of Amosi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Amosi Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from amosi

  1. Amosi Chapter 1
  2. Amosi Chapter 3
  3. Amosi Chapter 2
  4. Amosi Chapter 8
  5. Amosi Chapter 5
  6. Amosi Chapter 4
  7. Amosi Chapter 9

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Ebyabaleevi Chapter 22
  2. Nakumu Chapter 3
  3. Zabbuli Chapter 65
  4. 2 Bassekabaka Chapter 14
  5. Malaki Chapter 4
  6. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 3
  7. Ezekyeri Chapter 27

Related Chapters & Readings

  1. Yobu Chapter 2
  2. Ekyamateeka Chapter 24
  3. 1 Yokaana Chapter 5
  4. Yobu Chapter 6
  5. Ezekyeri Chapter 5
  6. Ezekyeri Chapter 12
  7. Isaaya Chapter 20
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *