Read 1 Ebyomumirembe Chapter 18 Online
Read 1 Ebyomumirembe Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Ebyomumirembe 18
Essuula 18
1. Awo oluvannyuma lw'ebyo olwatuuka Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula, n'aggya Gaasi n'ebyalo byako mu mukono gw'Abafirisuuti.
2. N'akuba Mowaabu; Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuleeteranga ebirabo.
3. Dawudi n'akuba Kadalezeri kabaka w'e Zoba okutuusa e Kamasi, bwe yali ng'agenda okunyweza okufuga kwe ku mugga Fulaati.
4. Dawudi n’amunyagako amagaali lukumi, n'abeebagala embalaasi kasanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi bubiri: Dawudi n’azitema enteega embalaasi zonna ez'amagaali, naye n'aterekako ez'amagaali kikumi.
5. Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadalezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri.
6. Awo Dawudi n'ateeka (ebigo) mu Busuuli obw'e Ddamasiko; Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleetanga ebirabo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
7. Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadalezeri n'azitwala e Yerusaalemi.
8. Ne mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadalezeri, Dawudi n'aggyamu ebikomo bingi nnyo, Sulemaani bye yakoza ennyanja ey'ekikomo, n'empagi, n'ebintu eby'ebikomo.
9. Awo Toowu kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadalezeri kabaka w'e Zoba,
10. n'atuma Kadolamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza kubanga alwanye ne Kadalezeri n'amukuba; kubanga Kadalezeri yalwananga ne Toowu; era n'ebintu ebya zaabu n'effeeza n'ebikomo eby'engeri zonna byali naye.
11. Era n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwonga eri Mukama, wamu n'effeeza n'ezaabu bye yanyaga mu mawanga gonna; Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki.
12. Era nate Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'atta ku Baedomu mu Kiwonvu eky'Omunnyo lukumi mu lunaana.
13. N'ateeka ebigo mu Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'awa Dawudi okuwangula buli gye yagendanga yonna.
14. Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; n'atuukiriza emisango n'eby'ensonga eri abantu be bonna:
15. Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi Ye yali omujjukiza.
16. Ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Abimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Savusa ye yali omuwandiisi;
17. ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu okwetooloola kabaka.
About 1 Ebyomumirembe Chapter 18
Read 1 Ebyomumirembe Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Ebyomumirembe
Chapter: 18
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Ebyomumirembe Chapter 18 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Ebyomumirembe Chapter 18?
1 Ebyomumirembe Chapter 18 is part of the Book of 1 Ebyomumirembe in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Ebyomumirembe Chapter 18 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1 Ebyomumirembe
- 1 Ebyomumirembe Chapter 10
- 1 Ebyomumirembe Chapter 7
- 1 Ebyomumirembe Chapter 2
- 1 Ebyomumirembe Chapter 1
- 1 Ebyomumirembe Chapter 29
- 1 Ebyomumirembe Chapter 26
- 1 Ebyomumirembe Chapter 25
Explore More from Endagaano Enkadde
- Omubuulizi Chapter 6
- Malaki Chapter 4
- 2 Samwiri Chapter 12
- 2 Bassekabaka Chapter 1
- Olubereberye Chapter 15
- Zabbuli Chapter 39
- Zabbuli Chapter 98