Read Ebyabaleevi Chapter 17 Online
Read Ebyabaleevi Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebyabaleevi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ebyabaleevi and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ebyabaleevi 17
Essuula 17
1. Mukama n'agamba Musa nti
2. Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti Ekigambo kino Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti
3. Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira,
4. n'atagireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekitone eri Mukama mu maaso g'ennyumba ya Mukama: omusaayi gunaamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiye omusaayi; era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be:
5. abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe, ze baweerayo mu ttale mu bbanga bazireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne baziwaayo okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.
6. Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
7. So tebakyawangayo ssaddaaka zaabwe eri embuzi ennume, ze bagoberera okwenda nazo. Eryo linaabanga tteeka gye bali ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
8. Era onoobagamba nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka,
9. n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
10. Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; nnaateekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne mmuzikiriza mu bantu be.
11. Kubanga obulamu bw'ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu.
12. Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n'omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi:
13. Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaakwatanga ensolo yonna oba nnyonyi yonna eriika ng'ayigga; anaayiwanga omusaayi gwayo, n'agubikkako n'enfuufu.
14. Kubanga obulamu bw'ennyama yonna, omusaayi gwayo guba gumu n'obulamu bwayo: kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna: kubanga obulamu bw'ennyama yonna gwe musaayi gwayo: buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.
15. Era buli muntu anaalyanga ku eyo efa yokka, oba etaaguddwa ensolo, oba nzaalwa oba mugenyi, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'alyoka aba mulongoofu.
16. Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukizivu bwe.
About Ebyabaleevi Chapter 17
Read Ebyabaleevi Chapter 17 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebyabaleevi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ebyabaleevi
Chapter: 17
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ebyabaleevi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ebyabaleevi Chapter 17 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ebyabaleevi Chapter 17?
Ebyabaleevi Chapter 17 is part of the Book of Ebyabaleevi in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ebyabaleevi Chapter 17 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from ebyabaleevi
- Ebyabaleevi Chapter 18
- Ebyabaleevi Chapter 12
- Ebyabaleevi Chapter 16
- Ebyabaleevi Chapter 2
- Ebyabaleevi Chapter 1
- Ebyabaleevi Chapter 20
- Ebyabaleevi Chapter 8
Explore More from Endagaano Enkadde
- Zabbuli Chapter 107
- Olubereberye Chapter 25
- Danyeri Chapter 10
- Okubala Chapter 27
- Isaaya Chapter 35
- 2 Samwiri Chapter 14
- Okuva Chapter 30