Ekyamateeka Chapter 7

For English

Read Ekyamateeka Chapter 7 Online

Read Ekyamateeka Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyamateeka 7

Essuula 7

1. Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogenda okulya, n'asimbula mu maaso go amawanga mangi, Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omwamoli, n'Omukanani; n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, amawanga musanvu agakusinga obukulu n'amaanyi;

2. era Mukama Katonda wo bw'alibagabula mu maaso go, naawe n'obatta; n'olyoka obazikiririza ddala; tolagaananga nabo ndagaano yonna, so tobalaganga kisa:

3. so tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo.

4. Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu.

5. Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, mu naabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.

6. Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.

7. Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna:

8. naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe, Mukama kyeyava abaggyamu n'engalo ez'amaanyi, n'abanunula mu nnyumba y'obuddu, mu mukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri.

9. Kale manya nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye okutuusa emirembe olukumi;

10. asasula abo abamukyawa ng'alabagana n'amaaso, okubazikiriza: taddirirenga eri oyo amukyawa, naye anaamusasulanga ng'alabagana n'amaaso.

11. Kale oneekuumanga ekiragiro ekyo, n'amateeka, n'emisango, bye nkulagira leero, okubikolanga.

12. Awo olulituuka kubanga muwulira emisango gino; ne mugikwata, ne mugikola; Mukama Katonda wo anaakukwatiranga endagaano n'okusaasira bye yalayirira bajjajja bo:

13. era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa ebibala by'omubiri gwo n'ebibala by'ettaka lyo, eŋŋaano yo envinnyo yo n'amafuta go, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.

14. Onoobanga n'omukisa okusinga amawanga gonna: tewaabenga mugumba mu mmwe newakubadde omusajja newakubadde omukazi, newakubadde mu bisibo byo.

15. Era Mukama anaakuggyangako obulwadde bwonna; so taakussengako n’emu ku ndwadde embi ez'e Misiri, z'omanyi; naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa.

16. Era onoozikirizanga amawanga gonna Mukama Katonda wo g'anaakugabulanga; amaaso go tegaabasaasirenga: so toweerezanga bakatonda baabwe; kubanga ekyo kinaabanga kyambika gy'oli.

17. Bw'onooyogeranga m mutima gwo nti Amawanga gano gansinga obungi; nnyinza ntya okubanyaga?

18. tobatyanga; onojjukiriranga ddala Mukama Katonda wo bwe yakola Falaawo, ne Misiri yonna;

19. okukemebwa okunene amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero, n’engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa Mukama Katonda wo bye yakuggisaamu: bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya.

20. Era Mukama Katonda wo anaatumanga mu bo ennumba okutuusa abo abalisigalawo ne beekweka lwe balizikirira mu maaso ge.

21. Tobatekemukiranga: kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wo, Katonda omukulu era ow'entiisa.

22. Era Mukama Katonda wo anaasimbulanga amawanga gali mu maaso go kinnalimu; toliyinza kubamalawo mulundi gumu, ensolo ez'omu nsiko zireme okweyongera okukuyinga.

23. Naye Mukama Katonda wo anaabagabulanga mu maaso go; era anaabeeraliikirizanga okweraliikirira okungi, okutuusa lwe balizikirira.

24. Era anaagabulanga bakabaka baabwe mu mukono gwo, era onoozikirizanga erinnya lyabwe okuva wansi w'eggulu: tewaabenga muntu anaayinzanga okuyimirira mu maaso go, okutuusa lw'olibazikiriza.

25. Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro: teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu ebiriko, so teweetwaliranga, oleme okutegebwa mu ebyo: kubanga mizizo eri Mukama Katonda wo:

26. so toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe n'ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kintu ekyakolimirwa.

About Ekyamateeka Chapter 7

Read Ekyamateeka Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 7
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 7?

Ekyamateeka Chapter 7 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 20
  2. Ekyamateeka Chapter 27
  3. Ekyamateeka Chapter 15
  4. Ekyamateeka Chapter 4
  5. Ekyamateeka Chapter 9
  6. Ekyamateeka Chapter 3
  7. Ekyamateeka Chapter 5

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Ekyabalamuzi Chapter 1
  2. Danyeri Chapter 5
  3. Nakumu Chapter 2
  4. Ekyabalamuzi Chapter 19
  5. 1 Bassekabaka Chapter 2
  6. Zabbuli Chapter 86
  7. Olubereberye Chapter 43

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 43
  2. Ekyamateeka Chapter 24
  3. 1 Samwiri Chapter 2
  4. 2 Ebyomumirembe Chapter 25
  5. Okubala Chapter 16
  6. Olubereberye Chapter 15
  7. Olubereberye Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *