Read Okubala Chapter 24 Online
Read Okubala Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okubala and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Okubala 24
Essuula 24
1. Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, ng'olulala, okunoonya eddogo, naye n'ayolekeza amaaso ge olukoola.
2. Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe byali; omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.
3. N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:
4. Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n’amaaso ge nga gatunula:
5. Nti Eweema zo nga nnungi, ggwe Yakobo, Ennyumba zo, ggwe Isiraeri!
6. Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu, Ng'ensuku eziri ku lubalama lw'omugga, Ng'emiti egy'omugavu Mukama gye yasimba, Ng'emiti emyerezi egiri ku lubalama lw'amazzi.
7. Amazzi ganaakulukutanga okuva mu nsuwa ze. N'ensigo ze zinaabanga awali amazzi amangi, Ne kabaka we anaasinganga Agagi obugulumivu, N'obwakabaka bwe bunaagulumizibwanga.
8. Katonda amuggya mu Misiri; Alina amaanyi ng'ag'embogo. Aliriira ddala amawanga abalabe be, Era alimenyamenya amagumba gaabwe, N'abakuba okubafumita n'obusaale bwe.
9. Yabwama, yagalamira ng'empologoma ennume, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamusaggula? Aweebwenga omukisa buli anaakusabiranga omukisa, Era akolimirwenga buli anaakukolimiranga.
10. Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo: Balaki n'agamba Balamu nti Nakuyita okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule.
11. Kale nno dduka oddeyo ewuwo: mbadde njagala okukukuza obeere n'ekitiibwa kingi nnyo; naye, laba, Mukama akuziyizizza okuba n'ekitiibwa.
12. Balamu n'agamba Balaki nti Era saagamba n'ababaka bo be wantumira
13. nti Balaki bw'alyagala okumpa ennyumba ye ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, siyinza kuyita ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nnyima mu magezi gange nze; Mukama ky'anaayogera nange kye nnaayogera?
14. Era kaakano, laba, ŋŋenda eri abantu bange: jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola abantu bo mu nnaku ez'oluvannyuma.
15. N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Balamu mutabani wa Byoli ayogera, Era omusajja eyazibwa amaaso ayogera:
16. Oyo ayogera awulira ebigambo bya Katonda. Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula:
17. Nti Mmulaba, naye si kaakano: Mmutunuulira, naye tandi kumpi: Muliva emmunyeenye mu Yakobo, N'omuggo ogw'obwakabaka guliyimuka mu Isiraeri, Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu, Gulimenyera ddala abaana bonna ab'oluyoogaano.
18. Kale Edomu aliba butaka, Era ne Seyiri aliba butaka, abaali abalabe be; Isiraeri ng'akola eby'obuzira.
19. Era muliva mu Yakobo omu aliba n'okufuga, Alizikiriza abalifikkawo mu kibuga.
20. N'atunuulira Amaleki, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Amaleki yali wa lubereberye mu mawanga; Naye enkomerero ye ey'oluvannyuma erituuka mu kuzikirira.
21. N'atunuulira Omukeeni, n'agera olugero lwe n'ayogera nti Ekifo kyo eky'okutuulamu kya maanyi, N'ekisu kyo kyateekebwa ku lwazi.
22. Naye Kayini alinyagibwa, Okutuusa Asuli lw'alikutwala mu busibe.
23. N'agera olugero lwe, n'ayogera nti Zitusanze, ani aliba omulamu Katonda bw'alikola kino?
24. Naye ebyombo biriva ku ttale ly'e Kittimu, Biribonereza Asuli, biribonereza ne Eberi, Era naye alituuka mu kuzikirira.
25. Balamu n'agolokoka, n'agenda n'addayo mu kifo kye: ne Balaki n'addayo.
About Okubala Chapter 24
Read Okubala Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okubala in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Okubala
Chapter: 24
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okubala. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Okubala Chapter 24 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Okubala Chapter 24?
Okubala Chapter 24 is part of the Book of Okubala in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Okubala Chapter 24 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 22
- Engero Chapter 16
Explore More from Okubala
- Okubala Chapter 14
- Okubala Chapter 35
- Okubala Chapter 34
- Okubala Chapter 12
- Okubala Chapter 4
- Okubala Chapter 25
- Okubala Chapter 19