2 Abakkolinso Chapter 9

For English

Read 2 Abakkolinso Chapter 9 Online

Read 2 Abakkolinso Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Abakkolinso and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Abakkolinso 9

Essuula 9

1. Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekinneetaagisa kubibawandiikira:

2. kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo.

3. Naye ntuma ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke:

4. mpozzi ab'e Makedoni abalala bwe balijja nange, bwebalibasanga nga temweteeseteese, ffe (obutoogera mmwe) tuleme okukwatibwa ensonyi mu kusuubira okwo.

5. Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere: okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasuubiza edda, gulyoke gweteeketeeke, ng'omukisa, so si ng'ekisoloozebwa.

6. Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.

7. Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.

8. Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:

9. nga bwe kyawandiikibwa nti Yasasaanya, yagabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna.

10. Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga, anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:

11. nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.

12. Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda;

13. kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda okw'okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna;

14. era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe:

15. Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka.

About 2 Abakkolinso Chapter 9

Read 2 Abakkolinso Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Abakkolinso
Chapter: 9
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Abakkolinso Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Abakkolinso Chapter 9?

2 Abakkolinso Chapter 9 is part of the Book of 2 Abakkolinso in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Abakkolinso Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-abakkolinso

  1. 2 Abakkolinso Chapter 8
  2. 2 Abakkolinso Chapter 6
  3. 2 Abakkolinso Chapter 2
  4. 2 Abakkolinso Chapter 11
  5. 2 Abakkolinso Chapter 12
  6. 2 Abakkolinso Chapter 5
  7. 2 Abakkolinso Chapter 3

Explore More from Endagaano Empya

  1. Lukka Chapter 9
  2. Abakkolosaayi Chapter 3
  3. 2 Abakkolinso Chapter 8
  4. 2 Abakkolinso Chapter 4
  5. Ebikolwa Chapter 11
  6. Yokaana Chapter 15
  7. 1 Abasessaloniika Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Okubikkulirwa Chapter 5
  2. Yobu Chapter 28
  3. Olubereberye Chapter 5
  4. 1 Ebyomumirembe Chapter 25
  5. Okubala Chapter 8
  6. Zekkaliya Chapter 7
  7. Koseya Chapter 9
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *