Read 2 Samwiri Chapter 9 Online
Read 2 Samwiri Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Samwiri and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Samwiri 9
Essuula 9
1. Dawudi n'ayogera nti Wakyaliwo asigaddewo ku nnyumba ya Sawulo, mmukole eby'ekisa ku lwa Yonasaani?
2. Awo waaliwo ku nnyumba ya Sawulo omuddu erinnya lye Ziba, ne bamuyita eri Dawudi; kabaka n'amugamba nti Ggwe Ziba? N'ayogera nti Omuddu wo ye wuuyo.
3. Kabaka n'ayogera nti Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukole eby'ekisa kya Katonda? Ziba n'agamba kabaka nti Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere.
4. Kabaka n'amugamba nti Ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
5. Awo kabaka Dawudi n'atuma n'amuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
6. Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'ayogera nti Mefibosesi. N'addamu nti Laba omuddu wo.
7. Dawudi n'amugamba nti Totya: kubanga siireme kukukola bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.
8. Ne yeeyanza n'ayogera nti Omuddu wo ye ani ggwe okutunuulira embwa enfu nga nze bwe ndi?
9. Awo kabaka n'ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n'amugamba nti Byonna ebyabanga ebya Sawulo n'eby'ennyumba ye yonna mbiwadde omwana wa mukama wo.
10. Naawe onoomulimiranga ettaka, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga: naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange. Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano n'abaddu amakumi abiri.
11. Awo Ziba n'agamba kabaka nti Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga. Mefibosesi, bwe yayogera kabaka, anaalyanga ku mmeeza yange ng'omu ku baana ba kabaka.
12. Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.
13. Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi: kubanga yalyanga bulijjo ku mmeeza ya kabaka; era yalemala ebigere bye byombi.
About 2 Samwiri Chapter 9
Read 2 Samwiri Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Samwiri
Chapter: 9
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Samwiri Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Samwiri Chapter 9?
2 Samwiri Chapter 9 is part of the Book of 2 Samwiri in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Samwiri Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2-samwiri
- 2 Samwiri Chapter 24
- 2 Samwiri Chapter 21
- 2 Samwiri Chapter 18
- 2 Samwiri Chapter 16
- 2 Samwiri Chapter 15
- 2 Samwiri Chapter 14
- 2 Samwiri Chapter 12
Explore More from Endagaano Enkadde
- Ezekyeri Chapter 6
- Okubala Chapter 18
- Yoswa Chapter 13
- Nekkemiya Chapter 4
- Olubereberye Chapter 13
- Yeremiya Chapter 45
- Zabbuli Chapter 43