Read 3 Yokaana Chapter 1 Online
Read 3 Yokaana Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 3 Yokaana in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 3 Yokaana and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
3 Yokaana 1
Essuula 1
1. Nze omukadde mpadiikira Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2. Omwagalwa, nsaba obeerenga bulungi mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu, ng'omwoyo gwo bwe gubeera obulungi.
3. Kubanga nnasanyuka nnyo ab'oluganda bwe bajja ne bategeeza amazima go, nga ggwe bw'otambulira mu mazima.
4. Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.
5. Omwagalwa, gya bwesigwa emirimu gyo gyonna gyonna gy'okolera ab'oluganda era abagenyi;
6. abaategeeza okwagala kwo mu maaso g'ekkanisa; abo bw'onoobatambuzanga nga Katonda bw'asaanira, onookolanga bulungi:
7. kubanga baavaayo olw'Erinnya nga tebaweereddwa kintu ba mawanga.
8. Kale kitugwanidde okusembezanga abali ng'abo tulyoke tukolenga omulimu gumu n'amazima.
9. Nnawandiikira ekkanisa ekigambo: naye Diyotuleefe ayagala okubeera omukulu waabwe tatukkiriza.
10. Bwe ndijja kyendiva njijukiza abantu ebikolwa bye by'akola ng'ayogera ku ffe ebigambo ebibi ebitaliimu: so ebyo tebimumala, naye era ye yennyini tasembeza ba luganda, era n'abaagala okubasembeza abaziyiza n'abagoba mu kkanisa.
11. Omwagalwa, togobereranga kibi, wabula ekirungi. Akola obulungi ye wa Katonda: akola obubi nga talabanga Katonda.
12. Demeteriyo asiimibwa bonna, era n'amazima gennyini: era naffe tutegeeza; naawe omanyi ng'okutegeeza kwaffe kwa mazima.
13. Nnalina ebigambo bingi okukuwandiikira, naye saagala kukuwandiikira na bwino na kkalaamu:
14. naye nsuubira okukulaba amangu, tulyogera akamwa n'akamwa. Emirembe gibenga gy'oli. Ab'omukwano bakulamusizza. Lamusa ab'omukwano ng'amannya gaabwe bwe gali.
About 3 Yokaana Chapter 1
Read 3 Yokaana Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 3 Yokaana in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 3 Yokaana
Chapter: 1
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 3 Yokaana. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 3 Yokaana Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 3 Yokaana Chapter 1?
3 Yokaana Chapter 1 is part of the Book of 3 Yokaana in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 3 Yokaana Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 3 Yokaana
Explore More from Endagaano Empya
- Lukka Chapter 3
- 1 Yokaana Chapter 3
- Yokaana Chapter 12
- Makko Chapter 7
- Yokaana Chapter 1
- 2 Abakkolinso Chapter 5
- 1 Yokaana Chapter 1