Read Nakumu Chapter 3 Online
Read Nakumu Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Nakumu in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Nakumu and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Nakumu 3
Essuula 3
1. Zikisanze ekibuga eky'omusaayi! kyonna kijjudde eby'obulimba n'eby'amaanyi; ekitaagulwataagulwa tekivaamu.
2. Okuvuuma kw'olukoba n'okuvuuma kwa bannamuziga abayiringita; n'embalaasi nga zinyirira n'amagaali nga gabuukabuuka;
3. n'abo abeebagala nga balinnya n'okumasamasa kw'ekitala n'okumyansa kw'amafumu; era abafu bangi n'emirambo entuumo nnene; so n'emirambo tegiriiko we gikoma; beesittala ku mirambo gyabwe.
4. Kubanga okwenda kw'omwenzi omulungi kungi nnyo nnyini, omukulu w'obulogo, atunda amawanga n'eby'obwenzi bye, era enda n'obulogo bwe.
5. Laba, ndi mulabe wo bw'ayogera Mukama w'eggye; nange ndibikkula ebirenge byo ku maaso go; nange ndirabisa amawanga obwereere bwo, n'obwakabaka ndibulabisa ensonyi zo.
6. Era ndikusuulira ebyenyinyalwa, era ndikuggyako ekitiibwa, era ndikussaawo okuba ekyerolerwa.
7. Awo olulituuka bonna abalikutunuulira balikudduka ne boogera nti Nineeve kyonoonese; ani anaakikubira ebiwoobe? ndinoonyeza wa abo abalikukubagiza?
8. Osinga Nowamoni obulungi, ekyakubibwa awali emigga, ekyalina amazzi amangi enjuyi zonna; era olukomera lwakyo nnyanja: n'ennyanja yabeera bbugwe waakyo?
9. Obuwesiyopya ne Misiri maanyi gaakyo so tegasingika; aba Puti n'Abalubi be baali ababeezi bo.
10. Naye kyatwalibwa, kyagenda mu buddu; n'abaana baakyo abato baatandaggirwa ku masaŋŋanzira g'enguudo zonna n'ab'ekitiibwa baabakubirako akalulu, n'abakulu be bonna baasibibwa mu njegere.
11. Era naawe olitamiira, olikwekebwa; era naawe olinoonya ekigo ku lw'abalabe.
12. Ebigo byo byonna biriba nga mitiini egibaako ettiini ezisooka okwengera: bwe zikunkumuka, zigwa mu kamwa k'omuli.
13. Laba, abantu bo wakati wo bakazi; enzigi eza wankaaki ez'ensi yo ziggulirwa ddala eri abalabe bo; omuliro ne gulya emikiikiro gyo.
14. Weesenere amazzi olw'okuzingizibwa, nyweza ebigo byo, linnya ku ttaka, samba ebbumba, nyweza ekyokero ky'amatoffaali.
15. Omuliro gulikwokera eyo; ekitala kirikuzikiriza, kirikulya nga kalusejjera; weeyaze nga kalusejjera, weeyaze ng'enzige.
16. Wayaza abasuubuzi bo okusinga emmunyeenye ez'omu ggulu obungi; kalusejjera koonoona ne kabuuka ne kagenda.
17. Ababo abatikkiddwa engule baali ng'enzige; abagabe bo ng'ebifuko by'amayanzi agabeera mu bisagazi ku lunaku lw'empewo, naye enjuba bw'evaayo zidduka, n'ekifo we zibeera tekimanyibwa.
18. Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli; abakulu bo ab'ekitiibwa bawummula; abantu bo basaasaanira ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya.
19. Tewali kya kukkakkanya bulumi bwo; ekiwundu kyo kinene; bonna abawulira ebigambo byo bakukubira mu ngalo; kubanga muntu ki obubi bwo gwe butatuukako ennaku zonna?
About Nakumu Chapter 3
Read Nakumu Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Nakumu in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Nakumu
Chapter: 3
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Nakumu. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Nakumu Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Nakumu Chapter 3?
Nakumu Chapter 3 is part of the Book of Nakumu in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Nakumu Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19