Engero Chapter 26

For English

Read Engero Chapter 26 Online

Read Engero Chapter 26 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Engero and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Engero 26

Essuula 26

1. Ng'omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng'enkuba mu biro eby'okukunguliramu, N'ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru.

2. Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa.

3. Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi, N'omuggo gusaanira mabega ga basirusiru.

4. Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Era naawe olemenga okumufaanana.

5. Oddangamu omusirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okuba ow'amagezi mu kulowooza kwe ye.

6. Aweereza ebigambo mu mukono gw'omusirusiru Yeesalako ebigere, era anywa okufiirwa.

7. Amagulu gawenyera galeebeeta buleebeesi: Olugero bwe lubeera bwe lutyo mu kamwa k'abasirusiru.

8. Ng'ensawo erimu amayinja ag'omuwendo omungi eri mu kifunvu eky'amayinja, Bw'atyo bw'abeera oyo assaamu ekitiibwa omusirusiru.

9. Ng'eriggwa erifumita omukono gw'omutamiivu, Olugero bwe lubeera bwe lutyo mu kamwa k'abasirusiru.

10. Ng'omulasi afUMita bonna, Bw'abeera bw'atyo oyo agulirira omusirusiru, n'oyo agulirira abo abayitawo.

11. Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusirusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe.

12. Olaba omuntu ow'amagezi mu kulowooza kwe ye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye.

13. Omugayaavu ayogera nti Waliwo empologoma mu kkubo; Empologoma eri mu nguudo.

14. Ng'oluggi bwe lukyukira ku ŋŋango zaalwo, Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye.

15. Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya; Okuguzza nate ku kamwa ke kumukooyesa.

16. Omugayaavu alina amagezi mu kulowooza kwe ye Okukira abantu omusanvu abayinza okuleeta ensonga.

17. Ayitawo ne yeeraliikirira olw'empaka ezitali zize Aliŋŋanga akwata embwa ku matu.

18. Ng'omutalu akasuka emimuli, N'obusaale, n'okufa;

19. Bw'atyo bw'abeera omuntu alimba munne, N'ayogera nti Sizannya buzannya?

20. Enku nga zibuze omuliro kyeguva guzikira: Era awabuze omugeyi, okuyomba kuggwaawo.

21. Ng'amanda bwe gakwata ebisiriiza ebyokya n'enku nga bwe zikoleeza omuliro, Omuntu omuyombi bw'akoleeza bw'atyo oluyombo.

22. Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto.

23. Emimwa eminyiikivu n'omutima omubi Biri ng'ekintu eky'ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza.

24. Akyawa akuusakuusa n'emimwa gye, Naye atereka obulimba mu ye:

25. Bw'ayogeranga eky'okwegonza, tomukkirizanga: Kubanga mu mutima gwe mulimu eby'emizizo musanvu:

26. Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa, Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g'ekibiina.

27. Buli asima obunnya, aligwa omwo: N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye.

28. Olulimi olulimba lukyawa abo be lwafumita; N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira.

About Engero Chapter 26

Read Engero Chapter 26 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Engero in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Engero
Chapter: 26
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Engero. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Engero Chapter 26 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Engero Chapter 26?

Engero Chapter 26 is part of the Book of Engero in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Engero Chapter 26 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from engero

  1. Engero Chapter 1
  2. Engero Chapter 8
  3. Engero Chapter 29
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 13
  7. Engero Chapter 20

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 141
  2. 1 Samwiri Chapter 17
  3. 1 Abakkolinso Chapter 3
  4. 2 Bassekabaka Chapter 24
  5. Abaebbulaniya Chapter 2
  6. Zabbuli Chapter 2
  7. Zabbuli Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *