Yokaana Chapter 19

For English

Read Yokaana Chapter 19 Online

Read Yokaana Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yokaana and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Yokaana 19

Essuula 19

1. Awo Piraato n'alyoka atwala Yesu n'amukuba emiggo.

2. Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bamutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu;

3. ne bajja w'ali ne bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya! ne bamukuba empi.

4. Piraato n'afuluma nate ebweru, n'abagamba nti Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.

5. Awo Yesu n'afuluma, ng'ayambadde engule y'amaggwa n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti Laba omuntu oyo!

6. Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Komerera, komerera: Piraato n'abagamba nti Mumutwale mmwe mumukomerere: kubanga nze siraba musango ku ye.

7. Abayudaaya ne bamuddamu nti Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.

8. Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya;

9. n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti Oli wa wa? Naye Yesu n'atamuddamu.

10. Awo Piraato n'amugamba nti Toyogera nange? tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera?

11. Yesu n'amuddamu nti Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.

12. Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.

13. Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo n'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa.

14. Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti Laba Kabaka wammwe!

15. Awo bo ne boogerera waggulu nti Muggyeewo, muggyeewo mukomerere. Piraato n'abagamba nti Nnaakomerera Kabaka wammwe? Bakabona abakulu ne baddamu nti Tetulina kabaka wabula Kayisaali.

16. Awo n'alyoka amubawa okukomererwa. Awo ne batwala Yesu:

17. n'afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa:

18. ne bamukomererera awo, era n'abalala babiri wamu naye, eruuyi n'eruuyi, ne Yesu wakati.

19. Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti YESU OMUNAZAALEESI KABAKA W'ABAYUDAAYA.

20. Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi.

21. Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bamugamba Piraato nti Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya.

22. Piraato n'addamu nti Kye mpandiise kye mpandiise.

23. Awo basserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale muteeko; n'ekkanzu ye: n'ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu.

24. Ne bagamba bokka na bokka nti Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo: ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti Baagabana ebyambalo byange, Era baakubira akalulu eky'okwambala kyange. Awo basserikale ne bakola ebyo.

25. Naye awo awali omusalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene.

26. Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti Omukyala, laba, omwana wo!

27. Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti Laba nnyoko! Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.

28. Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n'agamba nti Nnina ennyonta.

29. Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe.

30. Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.

31. Kiwedde: Awo Abayudaaya, kubanga lwali lunaku lwa kuteekateeka, emirambo gireme okubeera ku musalaba ku lunaku lwa sabbiiti (kubanga olunaku lwa sabbiiti eyo lwali lukulu), ne basaba Piraato okubamenya amagulu gaabwe, balyoke baggibweko.

32. Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye:

33. naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu:

34. naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi.

35. Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize.

36. Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti Talimenyebwa ggumba.

37. Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti Balimulaba gwe baafumita.

38. Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggyako omulambo gwa Yesu: awo Piraato n'akkiriza. N'ajja, n'aggyako omulambo gwe.

39. Ne Nikoodemo n'ajja (eyasooka okujja gy'ali ekiro), ng'aleese ebitabule eby'envumbo ne akaloosi, obuzito bw'abyo laateri nga kikumi.

40. Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, nga Abayudaaya bwe bayisa okuziika.

41. Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku; ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu.

42. Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw'Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu.

About Yokaana Chapter 19

Read Yokaana Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yokaana in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Yokaana
Chapter: 19
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yokaana. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Yokaana Chapter 19 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Yokaana Chapter 19?

Yokaana Chapter 19 is part of the Book of Yokaana in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Yokaana Chapter 19 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Yakobo Chapter 5

Explore More from yokaana

  1. Yokaana Chapter 16
  2. Yokaana Chapter 3
  3. Yokaana Chapter 10
  4. Yokaana Chapter 5
  5. Yokaana Chapter 11
  6. Yokaana Chapter 2
  7. Yokaana Chapter 13

Related Chapters & Readings

  1. 2 Samwiri Chapter 9
  2. 1 Abakkolinso Chapter 14
  3. Ezekyeri Chapter 4
  4. Ebikolwa Chapter 8
  5. 1 Bassekabaka Chapter 7
  6. Danyeri Chapter 8
  7. Yokaana Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *