Zekkaliya Chapter 10

For English

Read Zekkaliya Chapter 10 Online

Read Zekkaliya Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zekkaliya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zekkaliya 10

Essuula 10

1. Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebimyansa; naye alibawa empandaggirize, buli muntu omuddo mu ttale.

2. Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebava bazuŋŋana ng'endiga; babonaabona kubanga tewali musumba.

3. Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza embuzi ennume; kubanga Mukama w'eggye akyalidde ekisibo kye; ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo.

4. Eri ye erivaayo ejjinja ery'oku nsonda, era eri ye enninga, era eri ye buli mukamuzi waamu.

5. Nabo baliba ng'abazira abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo ku lutalo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo: n'abo abeebagala embalaasi baliswala.

6. Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yusufu, nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira.

7. N'aba Efulayimu balibeera ng'omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge weewaawo, abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama.

8. Ndibayitiriza ndibakuŋŋaanya; kubanga mbanunudde; era balyala nga bwe baayala.

9. Nange ndibasiga mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo.

10. Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri, ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli; era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni; so tewalibalabikira bbanga.

11. Naye aliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, alikuba amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; n'ekyejo eky'Obwasuli kirikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako.

12. Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye, bw'ayogera Mukama.

About Zekkaliya Chapter 10

Read Zekkaliya Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zekkaliya
Chapter: 10
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zekkaliya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zekkaliya Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zekkaliya Chapter 10?

Zekkaliya Chapter 10 is part of the Book of Zekkaliya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zekkaliya Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from zekkaliya

  1. Zekkaliya Chapter 12
  2. Zekkaliya Chapter 11
  3. Zekkaliya Chapter 13
  4. Zekkaliya Chapter 3
  5. Zekkaliya Chapter 6
  6. Zekkaliya Chapter 8
  7. Zekkaliya Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 90
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 35
  3. Zabbuli Chapter 87
  4. Isaaya Chapter 44
  5. Matayo Chapter 14
  6. Mikka Chapter 5
  7. Omubuulizi Chapter 10
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *