Ekyamateeka Chapter 18

For English

Read Ekyamateeka Chapter 18 Online

Read Ekyamateeka Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

A+ A A-

Ekyamateeka 18

Essuula 18

1. Bakabona Abaleevi, kye kika kyonna ekya Leevi, tebabanga na mugabo newakubadde obusika awamu ne Isiraeri: banaalyanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, n'obusika bwe.

2. So tebabanga na busika mu baganda baabwe: Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.

3. Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawangayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, ne ssebusa.

4. Ebibereberye by'eŋŋaano yo, eby'envinnyo yo n'eby'amafuta go, n'ebibereberye by'ebyoya by'endiga zo, onoobimuwanga,

5. Kubanga Mukama Katonda wo yamweroboza mu bika byo byonna, okuyimiriranga okuweerezanga n'erinnya lya Mukama, ye ne batabani be emirembe gyonna.

6. Era Omuleevi bw'anaavanga mu luggi lwonna ku nzigi zo mu Isiraeri yenna, mw'atuula, n'ajja mu kifo Mukama ky'alyeroboza, emmeeme ye nga yeegombera ddala okujja;

7. anaaweerezanga n'erinnya lya Mukama Katonda we, nga baganda be bonna Abaleevi bwe bakola, abayimirira eyo mu maaso ga Mukama,

8. Banaabanga n'emigabo egyenkanankana okulya, obutassaako ebyo ebivudde mu kutunda obutaka bwe.

9. Bw'olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, toyiganga kukola ng'eby'emizizo eby'amawanga gali bwe biri.

10. Tewalabikanga gy'oli muntu yenna ayisa mu muliro mutabani we oba muwala we, newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire; newakubadde omulogo, newakubadde omuganga,

11. newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu.

12. Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama: era olw'emizizo egyo Mukama Katonda wo kyava abagoba mu maaso go.

13. Onoobanga eyatuukirira eri Katonda wo,

14. Kubanga amawanga gano g'olirya, bawulira abo abalaguza ebire n'abafumu: naye ggwe Mukama Katonda wo takuganyizza kukolanga bw'otyo.

15. Makama Katonda wo alikuyimusiza nabbi wakati wo, ku baganda bo, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira;

16. nga byonna bwe byali bye wasaba Mukama Katonda wo ku Kolebu ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako, ng'oyogera nti Nneme okuwulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda wange, era nneme okulaba nate omuliro guno omungi, nneme okufa.

17. Mukama n'aŋŋamba nti Boogedde bulungi ebyo bye bagambye.

18. Ndibayimusiza nabbi ku baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira.

19. Kale olulituuka buli ataliwulira bigambo byange by'alyogera mu linnya lyange, ndimulanga ekyo.

20. Naye nabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkiridde, bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nabbi oyo anaafanga.

21. Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?

22. Nabbi bw'anaayogeranga mu linnya lya Mukama, ekigambo ekyo bwe kitajja so tekituukirira, ekyo kye kigambo Mukama ky'atayogedde: nabbi ng'akyogedde nga yeetulinkiridde, tomutyanga.

About Ekyamateeka Chapter 18

Read Ekyamateeka Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 18
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 18 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 18?

Ekyamateeka Chapter 18 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 18 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 27
  2. Ekyamateeka Chapter 12
  3. Ekyamateeka Chapter 10
  4. Ekyamateeka Chapter 1
  5. Ekyamateeka Chapter 16
  6. Ekyamateeka Chapter 8
  7. Ekyamateeka Chapter 4

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Yobu Chapter 36
  2. Ekyabalamuzi Chapter 8
  3. Isaaya Chapter 47
  4. Okuva Chapter 40
  5. Zabbuli Chapter 15
  6. Zekkaliya Chapter 2
  7. Okuva Chapter 39

Related Chapters & Readings

  1. Okubala Chapter 5
  2. Abaruumi Chapter 5
  3. Matayo Chapter 11
  4. Yeremiya Chapter 19
  5. 1 Abakkolinso Chapter 7
  6. Ezekyeri Chapter 6
  7. Zabbuli Chapter 57
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *