Read Ekyamateeka Chapter 6 Online
Read Ekyamateeka Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Ekyamateeka 6
Essuula 6
1. Kale kino kye kiragiro, amateeka n'emisango, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi gye musomokera okugendamu okugirya:
2. otyenga Mukama Katonda wo, okwekuumanga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye nkulagira ggwe n'omwana wo n'omuzzukulu wo, ennaku zonna ez'obulamu bwo; era olyoke owangaale ennaku nnyingi.
3. Kale wulira, ggwe Isiraeri, okwatenga okukola kutyo; olabenga ebirungi, era mwale nnyo, nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakusuubiza, mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
4. Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu:
5. era onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.
6. Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo:
7. era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga:
8. Era onoobisibanga okuba akabonero ku mukono gwo, era binaabanga eby'oku kyenyi wakati w'amaaso go.
9. Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba yo, ne ku nzigi zo.
10. Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa: ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba,
11. n'ennyumba ezijjula ebirungi byonna, z'otajjuza, n'ebidiba ebyasimibwa, by'otaasima, ensuku ez'emizabibu n'emizeyituuni gy'otaasimba, n'olya n'okkuta;
12. n'olyoka weekuuma olemenga okwerabira Mukama: eyakuggya mu nsi y'e Misiri; mu nnyumba y'obuddu.
13. Onootyanga Mukama Katonda wo; era oyo onoomuweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga.
14. Temugobereranga bakatonda balala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde;
15. kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wammwe ye Katonda ow'obuggya; obusungu bwa Mukama Katonda wo buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza okukuggya ku maaso g'ensi.
16. Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa.
17. Munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n'ebyo bye yategeeza; n'amateeka ge, ge yakulagira:
18. Era onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekituukirivu era ekirungi: olyoke olabenga ebirungi, era oyingire olye ensi ennungi Mukama gye yalayirira bajjajja bo,
19. okugobamu abalabe bo bonna mu maaso go, nga Mukama bwe yayogera.
20. Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti Ebyo bye yategeeza, n'amateeka, n’emisango Mukama Katonda waffe bye yabalagira; amakulu gaabyo ki?
21. n'olyoka ogamba omwana wo, nti Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n’atuggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi:
22. era Mukama n’alaga obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, mu maaso gaffe:
23. n'atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajja baffe.
24. Era Mukama n'atulagira okukolanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe, olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga tuleme okufa, nga leero.
25. Era kinaabanga butuukirivu gye tuli, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe nga bwe yatulagira.
About Ekyamateeka Chapter 6
Read Ekyamateeka Chapter 6 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Ekyamateeka
Chapter: 6
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Ekyamateeka Chapter 6 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Ekyamateeka Chapter 6?
Ekyamateeka Chapter 6 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 6 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Ekyamateeka
- Ekyamateeka Chapter 27
- Ekyamateeka Chapter 20
- Ekyamateeka Chapter 15
- Ekyamateeka Chapter 4
- Ekyamateeka Chapter 3
- Ekyamateeka Chapter 9
- Ekyamateeka Chapter 5
Explore More from Endagaano Enkadde
- 1 Ebyomumirembe Chapter 25
- Olubereberye Chapter 21
- Zabbuli Chapter 73
- 2 Ebyomumirembe Chapter 6
- Yeremiya Chapter 31
- Olubereberye Chapter 37
- Zabbuli Chapter 14