Read 2 Bassekabaka Chapter 7 Online
Read 2 Bassekabaka Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Bassekabaka and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Bassekabaka 7
Essuula 7
1. Awo Erisa n'ayogera nti Muwulire ekigambo kya Mukama: bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Enkya bwe bunaaba nga kampegaano ekigero ky'obutta obulungi kiritundibwa sekeri, n'ebigero bibiri ebya sayiri sekeri mu wankaaki w'e Samaliya.
2. Awo omwami kabaka gwe yeesigamanga ku mukono gwe n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyo kyandiyinzise okubaawo? N'ayogera nti Laba, olikiraba n'amaaso go, naye toliryako.
3. Awo waaliwo abasajja bana abagenge awayingirirwa mu wankaaki: ne bagambagana nti Kiki ekitutuuza wano okutuusa lwe tulifa?
4. Oba nga tunaagamba nti Tunaayingira mu kibuga, kale enjala ng'eri mu kibuga, kale tunaafiira omwo: era oba nga tunaatuula wano butuuzi, era tunaafa. Kale nno mujje tusenge eggye ly'Abasuuli: bwe banaatuwonya nga balamu, kale tuliba balamu; era bwe banaatutta, tunaamala gafa.
5. Awo ne bagolokoka ekiro okugenda mu lusiisira olw'Abasuuli: awo bwe baatuuka ku lusiisira olw'Abasuuli we lukoma, laba, nga teriiyo muntu.
6. Kubanga Mukama yali awulizizza eggye ly'Abasuuli eddoboozi ly'amagaali n'eddoboozi ly'embalaasi, eddoboozi ly'eggye eringi: ne bagambagana nti Laba, kabaka wa Isiraeri atuweereddeko bakabaka b'Abakiiti ne bakabaka b'Abamisiri okututabaala.
7. Awo ne bagolokoka ne badduka kiro, ne baleka eweema zaabwe n'embalaasi zaabwe, n'endogoyi zaabwe, olusiisira nga bwe lwali, ne badduka olw'obulamu bwabwe.
8. Awo abagenge abo bwe baatuuka ku lusiisira we lukoma, ne bayingira mu weema emu ne balya ne banywa; ne baggyamu effeeza n'ezaabu n'ebyambalo, ne bagenda ne babikweka; ne bakomawo ne bayingira mu weema endala ne baggya n'omwo ne bagenda ne bakweka.
9. Awo ne bagambagana nti Tetukola bulungi: leero lunaku lwa bigambo birungi naffe tusirika: bwe tunaalindirira obudde ne bukya, tunajjirwa okubonerezebwa: kale nno mujje tugende tubuulire ab'omu nnyumba ya kabaka.
10. Awo ne bajja ne bakoowoola omuggazi w'ekibuga: ne bababuulira nti Twatuuse mu lusiisira lw'Abasuuli, kale, laba, nga temuli muntu newakubadde eddoboozi ly'omuntu, naye embalaasi nga zisibiddwa n'endogoyi nga zisibiddwa n'eweema nga bwe zaali.
11. Awo n'ayita abaggazi; ne babuulira ab'omu nnyumba ya kabaka munda.
12. Awo kabaka n'agolokoka kiro n'agamba abaddu be nti Kaakano naabategeeza Abasuuli kye batukoze. Bamanyi ng'enjala etuluma; kyebavudde bava mu lusiisira okwekweka mu nsiko nga boogera nti Bwe banaava mu kibuga tunaabawamba nga balamu, ne tuyingira mu kibuga.
13. Awo omu ku baddu be n'addamu n'ayogera nti Batwale ku mbalaasi ezisigadde ettaano, nkwegayiridde, ezisigadde mu kibuga, (laba, ziri ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ekisigadde mu kyo; laba, ziri ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ekimaliddwawo:) tutume tulabe.
14. Awo ne batwala amagaali abiri n'embalaasi; kabaka n'atuma okugoberera eggye ly'Abasuuli ng'ayogera nti Mugende mulabe.
15. Ne babagoberera okutuuka ku Yoludaani: kale, laba, ekkubo lyonna nga lijjudde ebyambalo n'ebintu Abasuuli bye basudde nga banguwa. Ababaka ne bakomawo ne babuulira kabaka.
16. Awo abantu ne bafuluma ne banyaga olusiisira olw'Abasuuli. Awo ekigero ky'obutta obulungi ne babutunda sekeri, n’ebigero ebya sayiri bibiri sekeri, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
17. Awo kabaka n'assaawo omwami gwe yeesigamanga ku mukono gwe okulabirira wankaaki, abantu ne bamulinnyiririra mu mulyango n'afa ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba eyayogera kabaka bwe yaserengeta gy'ali.
18. Awo ne kituukirira ng'omusajja wa Katonda bwe yagamba kabaka nti Ebigero ebya sayiri bibiri bya sekeri, n'ekigero ky'obutta obulungi kya sekeri, bwe kiriba bwe kityo mu mulyango gw'e Samaliya enkya bwe buliba nga kampegaano;
19. omwami oyo n'addamu omusajja wa Katonda n'ayogera nti Laba nno, Mukama bw'anaakola ebituli mu ggulu, ekigambo ekyenkanidde awo kyandiyinzise okubaawo? n'ayogera nti Laba, olikiraba n'amaaso go, naye toliryako:
20. ne kituukirira gy'ali bwe kityo; kubanga abantu baamulinnyiririra mu mulyango n'afa.
About 2 Bassekabaka Chapter 7
Read 2 Bassekabaka Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Bassekabaka
Chapter: 7
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Bassekabaka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Bassekabaka Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Bassekabaka Chapter 7?
2 Bassekabaka Chapter 7 is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Bassekabaka Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2-bassekabaka
- 2 Bassekabaka Chapter 10
- 2 Bassekabaka Chapter 5
- 2 Bassekabaka Chapter 4
- 2 Bassekabaka Chapter 22
- 2 Bassekabaka Chapter 18
- 2 Bassekabaka Chapter 11
- 2 Bassekabaka Chapter 21
Explore More from Endagaano Enkadde
- Okubala Chapter 23
- Yobu Chapter 22
- Yeremiya Chapter 27
- Ezekyeri Chapter 15
- Okuva Chapter 8
- Yobu Chapter 31
- Ebyabaleevi Chapter 24