Ekyamateeka Chapter 20

For English

Read Ekyamateeka Chapter 20 Online

Read Ekyamateeka Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyamateeka 20

Essuula 20

1. Bw'otabaalanga okulwana n'abalabe bo, n'olaba embalaasi n'amagaali n’abantu abakusinga obungi, tobatyanga: kubanga Mukama Katonda wo ali wamu naawe, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.

2. Awo olunaatuukanga bwe munaasembereranga olutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'abantu,

3. n'abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, musemberera olutalo leero okulwana n'abalabe bammwe: omutima gwammwe teguddiriranga; temutya so temukankana, so temubatekemukira;

4. kubanga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe, okubalwanirira eri abalabe bammwe okubalokola.

5. Era abaami banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti Muntu ki ali wano eyazimba ennyumba empya so nga tannagitukuza? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'agitukuza.

6. Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? agende addeyo eka aleme okufiira mu lutalo, omulala n’alya ebibala byalwo.

7. Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa.

8. Era abaami baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti Muntu ki ali wano atya era alina omutima oguddirira? agende addeyo eka, emitima gya baganda be gireme okusaanuuka ng'omutima gwe.

9. Awo olunaatuukanga abaami bwe banaamalanga okwogera n'abantu, banassangawo abakulu b'eggye okukulembera abantu.

10. Bw'onoosembereranga ekibuga okulwana nakyo, n'olyoka okirangiriranga emirembe.

11. Awo olunaatuukanga, bwe kinaddangamu eby'emirembe, ne kikuggulirawo, abantu bonna abalabika omwo banaafuukanga ab'omusolo, era banaakuweerezanga.

12. Era bwe kitakkirizanga kulagaana mirembe naawe, naye nga kyagala okulwana naawe, n'olyoka okizingizanga:

13. era Mukama Katonda wo bw'anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga buli musajja waamu n'obwogi bw'ekitala:

14. naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, oneetwaliranga okuba omunyago; era onoolyanga omunyago gw'abalabe bo, Mukama Katonda wo gwe yakuwa.

15. Bw'otyo bw'onookolanga ebibuga byonna ebikuli ewala ennyo, ebitali bya ku bibuga bya mawanga gano.

16. Naye ku bibuga by'abantu bano, Mukama Katonda wo b'akuwa okuba obusika, towonyangako kintu ekissa omukka kiremenga okufa:

17. naye onoobazikiririzanga ddala; Omukiiti, n'Omwamoli, Omukanani, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi; nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira:

18. balemenga okubayigiriza okukola ng'eby'emizizo byabwe byonna bwe biri, bye baakoleraaga bakatonda baabwe; bwe mutyo mwandisobezza Mukama Katonda wammwe.

19. Bw'onoomalanga ebiro bingi ng'ozingizza ekibuga, ng'olwana nakyo okukinyaga, tozikirizanga miti gyakyo ng'ogigalulira embazzi; kubanga oyinza okugiryako, era togitemanga; kubanga omuti ogw'omu nsiko muntu, ggwe okuguzingiza gwo?

20. Emiti egyo gyokka gy'omanyi nga si miti gya kulyako, gy'onoozikirizanga gy'onootemanga; era onoozimbiranga ebigo ku kibuga ekirwana naawe, okutuusa lwe kirigwa.

About Ekyamateeka Chapter 20

Read Ekyamateeka Chapter 20 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 20
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 20 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 20?

Ekyamateeka Chapter 20 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 20 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 27
  2. Ekyamateeka Chapter 1
  3. Ekyamateeka Chapter 16
  4. Ekyamateeka Chapter 12
  5. Ekyamateeka Chapter 10
  6. Ekyamateeka Chapter 8
  7. Ekyamateeka Chapter 4

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. 2 Samwiri Chapter 7
  2. Zekkaliya Chapter 11
  3. Ezekyeri Chapter 29
  4. Yeremiya Chapter 9
  5. Ebyabaleevi Chapter 7
  6. Zabbuli Chapter 4
  7. Eseza Chapter 3

Related Chapters & Readings

  1. 1 Samwiri Chapter 22
  2. 2 Abakkolinso Chapter 1
  3. Abafiripi Chapter 2
  4. Ezekyeri Chapter 13
  5. Zabbuli Chapter 8
  6. Zabbuli Chapter 114
  7. Zabbuli Chapter 116
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *