Ekyamateeka Chapter 14

For English

Read Ekyamateeka Chapter 14 Online

Read Ekyamateeka Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyamateeka 14

Essuula 14

1. Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe: temwesalanga, so temumwanga kiwalaata kyonna wakati w'amaaso gammwe olw'abafu.

2. Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo, era Mukama yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.

3. Tolyanga kintu kyonna kya muzizo.

4. Zino ze nsolo ze munaalyanga: ente, endiga n’embuzi,

5. enjaza n’empeewo n’ennangaazi n'embulabuzi n'entamu n'enteŋŋo n'endiga ey'omu nsiko.

6. Na buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era ekirina ekinuulo ekyaseemu, ezza obwenkulumo, mu nsolo, eyo gye munaalyanga.

7. Naye zino ze mutalyangako ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ku ezo ezirina ekinuulo ekyaseemu: eŋŋamira n'akamyu n'omusu, kubanga bizza obwenkulumo, naye tebyawulamu kinuulo, ebyo si birongoofu gye muli:

8. n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, eyo si nnongoofu gye muli: ku nnyama yaabyo temugiryangako, n'emirambo gyabyo temugikomangako.

9. Bino bye munaalyanga ku byonna ebiba mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba munaakiryanga:

10. na buli ekitalina maggwa na magamba temukiryanga; si kirongoofu gye muli.

11. Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako.

12. Naye zino ze mutalyangako: ennunda, n'empungu, ne makwanzi;

13. ne wonzi, n'eddiirawamu, ne kamunye n'engeri ye;

14. na buli namuŋŋoona n'engeri ye;

15. ne maaya, n'olubugabuga, n’olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;

16. n'ekiwuugulu, n'ekkufukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu;

17. n'ekimbaala, n'ensega, n'enkobyokobyo;

18. ne kasiida, ne ssekanyolya n'engeri ye, n’ekkookootezi, n'ekinyira.

19. Ne byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro si birongoofu gye muli: tebiriibwanga.

20. Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako.

21. Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka: oyinza okukiwa munnaggwanga ali munda w'enzigi zo akirye; oba oyinza okukiguza munnaggwanga: kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina wagwo.

22. Tolemanga kusolooza kitundu kya kkumi ku bibala byonna eby'ensigo zo ebinaavanga mu nnimiro buli mwaka.

23. Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n’eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna.

24. Era oba ng'olugendo lunaakuyinganga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa;

25. onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza:

26. kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo:

27. n’Omuleevi ali munda w'enzigi zo, tomwabuliranga; kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe.

28. Buli myaka esatu bwe giggwangako, onoofulumyanga ekitundu kyonna eky'ekkumi eky'ebibala byo mu mwaka ogwo, n'okiterekanga munda w'enzigi zo:

29. n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe, ne munnaggwanga, ne mulekwa, ne namwandu abali munda w'enzigi zo, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo gw'okola.

About Ekyamateeka Chapter 14

Read Ekyamateeka Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 14
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 14 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 14?

Ekyamateeka Chapter 14 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 14 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 27
  2. Ekyamateeka Chapter 20
  3. Ekyamateeka Chapter 15
  4. Ekyamateeka Chapter 4
  5. Ekyamateeka Chapter 3
  6. Ekyamateeka Chapter 9
  7. Ekyamateeka Chapter 5

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Zabbuli Chapter 15
  2. Yobu Chapter 1
  3. Okubala Chapter 10
  4. Zabbuli Chapter 148
  5. Yeremiya Chapter 4
  6. Olubereberye Chapter 47
  7. Nekkemiya Chapter 6

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 16
  2. Zabbuli Chapter 79
  3. Ezera Chapter 4
  4. Yeremiya Chapter 27
  5. Zabbuli Chapter 92
  6. 1 Samwiri Chapter 12
  7. Zabbuli Chapter 23
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *