Ekyamateeka Chapter 8

For English

Read Ekyamateeka Chapter 8 Online

Read Ekyamateeka Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyamateeka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyamateeka 8

Essuula 8

1. Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero munaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe.

2. Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo lwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze, akukeme, okumanya ebyali mu mutima gwo, oba ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo.

3. N'akutoowaza, n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.

4. Ebyambalo byo tebyakaddiyiranga ku ggwe, so n'ekigere kyo tekyazimbanga, emyaka gino amakumi ana.

5. Era onoolowoozanga mu mutima gwo ng'omuntu nga bw'akangavvula omwana we, bw'atyo Mukama Katonda wo bw'akukangavvula ggwe.

6. Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga.

7. Kubanga Mukama Katonda wo akuyingiza mu nsi ennungi, ensi ey'emigga gy'amazzi, ey'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu biwonvu ne ku nsozi;

8. ensi ey'eŋŋaano ne sayiri; n'emizabbibu n'emitiini n’emikomamawanga;

9. ensi mw'onooliiranga emmere n'etebula, toobengako ky'obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi zaayo oyinza okusima ebikomo.

10. Era onoolyaaga n'okkuta, ne weebaza Mukama Katonda wo olw'ensi ennungi gye yakuwa.

11. Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda wo, obuteekuumanga biragiro bye n'emisango gye n'amateeka ge bye nkulagira leero:

12. bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba ennyumba ennungi n'okutuula omwo;

13. era ente zo n’embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga zaaze, ne byonna by'olina nga byaze;

14. kale omutima gwo gulemenga okugulumizibwa, ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu;

15. eyakuyisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota egy'omuliro n’enjaba ez'obusagwa, n'ettaka erirumwa ennyonta awatali mazzi; eyakuggira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale;

16. eyakuliisiza mu ddungu emmaanu, bajjajja bo gye batamanyanga; akutoowaze, akukeme, akukole bulungi ku nkomerero yo:

17. era olemenga okwogera mu mutima gwo nti Obuyinza bwange n’amaanyi g'omukono gwange bye binfunidde obugagga buno.

18. Naye onojjukiraaga Mukama Katonda wo, kubanga oyo yakuwa obuyinza okufuna obugagga; anyweze endagaano ye gye yalayirira bajjajja bo, nga leero.

19. Awo olunaatuukanga, bw'oneerabiranga Mukama Katonda wo n'ogoberera bakatonda abalala n'obaweereza n'obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira.

20. Ng'amawanga Mukama g'azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.

About Ekyamateeka Chapter 8

Read Ekyamateeka Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyamateeka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyamateeka
Chapter: 8
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyamateeka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyamateeka Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyamateeka Chapter 8?

Ekyamateeka Chapter 8 is part of the Book of Ekyamateeka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyamateeka Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Ekyamateeka

  1. Ekyamateeka Chapter 27
  2. Ekyamateeka Chapter 1
  3. Ekyamateeka Chapter 16
  4. Ekyamateeka Chapter 12
  5. Ekyamateeka Chapter 10
  6. Ekyamateeka Chapter 4
  7. Ekyamateeka Chapter 23

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Yobu Chapter 30
  2. Engero Chapter 3
  3. Yobu Chapter 17
  4. Ekyamateeka Chapter 7
  5. Zabbuli Chapter 104
  6. Olubereberye Chapter 8
  7. Yobu Chapter 19

Related Chapters & Readings

  1. Isaaya Chapter 56
  2. Yeremiya Chapter 1
  3. Yeremiya Chapter 44
  4. Isaaya Chapter 32
  5. Yobu Chapter 9
  6. Abaruumi Chapter 11
  7. Matayo Chapter 16
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *