Okuva Chapter 25

For English

Read Okuva Chapter 25 Online

Read Okuva Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okuva 25

Essuula 25

1. Mukama n'agamba Musa nti

2. Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange.

3. Kino kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo;

4. n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi;

5. n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita;

6. amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;

7. amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba.

8. Era Bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe.

9. Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.

10. Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.

11. Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola.

12. Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri.

13. Era olikola emisituliro egy'omuti gwa sita, oligibikkako zaabu.

14. Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esitulibwenga n'egyo.

15. Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko: tegiggibwangamu.

16. Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa.

17. Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo.

18. Era olikola ba kerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira.

19. Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri.

20. Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.

21. Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku sanduuko; era mu sanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa.

22. Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakuIagiranga eri abaana ba Isiraeri.

23. Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.

24. Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola.

25. Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.

26. Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana.

27. Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza.

28. Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo.

29. Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola.

30. Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo.

31. Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo:

32. n'amatabi mukaaga galiva mu mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo lumu, n'amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo olw'okubiri:

33. ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo;

34. ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo:

35. n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo.

36. Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo: kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu.

37. Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu: era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo.

38. Ne makaasi waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi.

39. Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna.

40. Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.

About Okuva Chapter 25

Read Okuva Chapter 25 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okuva
Chapter: 25
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okuva Chapter 25 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okuva Chapter 25?

Okuva Chapter 25 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okuva Chapter 25 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 14
  7. Engero Chapter 13

Explore More from okuva

  1. Okuva Chapter 35
  2. Okuva Chapter 37
  3. Okuva Chapter 7
  4. Okuva Chapter 8
  5. Okuva Chapter 4
  6. Okuva Chapter 13
  7. Okuva Chapter 9

Related Chapters & Readings

  1. Engero Chapter 30
  2. Zabbuli Chapter 69
  3. Ebyabaleevi Chapter 20
  4. Ekyabalamuzi Chapter 20
  5. 2 Ebyomumirembe Chapter 12
  6. Yobu Chapter 34
  7. Abakkolosaayi Chapter 3
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *