Okuva Chapter 24

For English

Read Okuva Chapter 24 Online

Read Okuva Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Okuva and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Okuva 24

Essuula 24

1. N'agamba Musa nti Linnya eri Mukama, ggwe ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri; era musinzize wala:

2. Musa yekka asemberere Mukama; naye bo baleme okusembera so abantu baleme okulinnya awamu naye.

3. Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'emisango gyonna: abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikola.

4. Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.

5. N'atuma abavubuka ab'abaana ba Isiraeri, ne bookya ebyokwokya, ne bawaayo ebiweebwayo olw'emirembe eby'ente eri Mukama.

6. Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto.

7. N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'asoma mu matu g'abantu: ne boogera nti Byonna Mukama by'ayogedde tulibikola, era tuliwulira.

8. Musa n'atoola omusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna.

9. Musa n'alyoka alinnya, ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri:

10. ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala.

11. So ku bakungu b'abaana ba Isiraeri n'atateekako mukono gwe: ne bamulaba Katonda, ne balya ne banywa:

12. Mukama n'agamba Musa nti Linnya gye ndi ku lusozi, obeereyo : nange ndikuwa ebipande by'amayinja, n'amateeka n'ekiragiro, bye mpandiise, obiyigirize.

13. Musa n'agolokoka ne Yoswa omuweereza we: Musa n'alinnya ku lusozi lwa Katonda.

14. N'agamba abakadde nti Mutulindirire wano, okutuusa lwe tulibajjira nate: ne Alooni ne Kuuli, laba, bali wamu nammwe: buli alina ensonga, asemberere bo.

15. Musa n'alinnya ku lusozi, ekire ne kibikka olusozi.

16. Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga: ku lunaku olw'omusanvu n'ayita Musa ng'ayima wakati w'ekire.

17. Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri.

18. Musa n'ayingira wakati mu kire, n'alinnya ku lusozi: Musa n'amala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.

About Okuva Chapter 24

Read Okuva Chapter 24 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Okuva in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Okuva
Chapter: 24
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Okuva. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Okuva Chapter 24 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Okuva Chapter 24?

Okuva Chapter 24 is part of the Book of Okuva in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Okuva Chapter 24 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 17
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 22
  6. Engero Chapter 16
  7. Engero Chapter 14

Explore More from okuva

  1. Okuva Chapter 38
  2. Okuva Chapter 31
  3. Okuva Chapter 16
  4. Okuva Chapter 39
  5. Okuva Chapter 10
  6. Okuva Chapter 17
  7. Okuva Chapter 26

Related Chapters & Readings

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Zabbuli Chapter 22
  3. Okuva Chapter 22
  4. Olubereberye Chapter 9
  5. Olubereberye Chapter 46
  6. Danyeri Chapter 4
  7. Abaggalatiya Chapter 2
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *