Abaggalatiya Chapter 5

For English

Read Abaggalatiya Chapter 5 Online

Read Abaggalatiya Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaggalatiya in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaggalatiya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abaggalatiya 5

Essuula 5

1. Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.

2. Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwanga, Kristo talibaako ky'alibagasa.

3. Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna.

4. Mwawuliddwa eri Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa.

5. Kubanga ffe ku bw'Omwoyo olw'okukkiriza tulindirira essuubi ery'obutuukirivu.

6. Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa tekulina maanyi newakubadde obutakomolebwa, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala.

7. Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima?

8. Okuwemba okwo tekwava eri oyo abayita.

9. Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.

10. Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani.

11. Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo.

12. Nnandyagadde bali abababuguutanya n'okweyawula beeyawule.

13. Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye eddembe lyammwe liremenga okubeera omubiri kwe guyima, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka.

14. Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.

15. Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka.

16. Naye njogera nti Mutambulirenga mu Mwoyo, kale temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri.

17. Kubanga omubiri gwegomba nga guwakana n'Omwoyo, n'Omwoyo nga guwakana n'omubiri; kubanga ebyo byolekanye, mulemenga okukola ebyo bye mwagala.

18. Naye bwemuluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka.

19. Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, empitambi, obukaba,

20. okusinza ebifaananyi, okuloga; obulabe, okuyomba; obuggya; obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu,

21. ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubabuulira ku ebyo, nga bye nnasooka okubabuulira, nti bali abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.

22. Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza,

23. obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka.

24. N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'okukwatibwa n'okwegomba kwagwo.

25. Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo.

26. Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tukwatibwa obuggya fekka na fekka.

About Abaggalatiya Chapter 5

Read Abaggalatiya Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaggalatiya in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abaggalatiya
Chapter: 5
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaggalatiya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abaggalatiya Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abaggalatiya Chapter 5?

Abaggalatiya Chapter 5 is part of the Book of Abaggalatiya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abaggalatiya Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from abaggalatiya

  1. Abaggalatiya Chapter 2
  2. Abaggalatiya Chapter 6
  3. Abaggalatiya Chapter 4
  4. Abaggalatiya Chapter 3
  5. Abaggalatiya Chapter 1

Explore More from Endagaano Empya

  1. Lukka Chapter 18
  2. Ebikolwa Chapter 17
  3. Matayo Chapter 27
  4. Okubikkulirwa Chapter 4
  5. Lukka Chapter 17
  6. Makko Chapter 12
  7. Lukka Chapter 16

Related Chapters & Readings

  1. Ezekyeri Chapter 46
  2. Yobu Chapter 29
  3. Olubereberye Chapter 22
  4. Ebikolwa Chapter 22
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 24
  6. Okubikkulirwa Chapter 4
  7. Matayo Chapter 27
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *