Read 1 Abakkolinso Chapter 8 Online
Read 1 Abakkolinso Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Abakkolinso and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Abakkolinso 8
Essuula 8
1. Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumanyi nga tulina fenna okutegeera. Okutegeera kwegulumizisa, naye okwagala kuzimba.
2. Omuntu bw'alowoozanga ng'aliko ky'ategedde, nga tannategeera nga bwe kimugwanira okutegeera;
3. naye omuntu bw'ayagala Katonda, oyo ategeerwa ye.
4. Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumanyi ng'ekifaananyi si kintu mu nsi, era nga tewali Katonda omulala wabula omu.
5. Kuba newakubadde nga waliwo abayitibwa bakatonda, oba mu ggulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi;
6. naye gye tuli waliwo Katonda omu, Kitaffe, omuva byonna, naffe tuli ku bw'oyo; ne Mukama waffe omu, Yesu Kristo, abeesaawo byonna, era atubeesaawo ffe:
7. Naye okutegeera okwo tekuli mu bantu bonna: naye abalala, kubanga baamanyiira ebifaananyi okutuusa kaakano, balya ng'ekiweereddwa eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubeera n'empitambi.
8. Naye ekyokulya tekitusiimisa eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongerako.
9. Naye mwekuumenga mpozzi obuyinza bwammwe obwo bulemenga okuba enkonge eri abanafu.
10. Kubanga omuntu bw'akulaba ggwe alina okutegeera ng'otudde ku mmere mu ssabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'aba nga munafu, teguliguma kulya ebiweebwa eri ebifaananyi?
11. Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kwo, ow'oluganda Kristo gwe yafiirira.
12. Era bwe kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe guba nga munafu, nga mwonoona Kristo.
13. Kale, oba ng'ekyokulya kyesittaza muganda wange, siiryenga nnyama emirembe gyonna, nnemenga okwesittaza muganda wange.
About 1 Abakkolinso Chapter 8
Read 1 Abakkolinso Chapter 8 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Abakkolinso
Chapter: 8
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Abakkolinso Chapter 8 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Abakkolinso Chapter 8?
1 Abakkolinso Chapter 8 is part of the Book of 1 Abakkolinso in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Abakkolinso Chapter 8 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1 Abakkolinso
- 1 Abakkolinso Chapter 5
- 1 Abakkolinso Chapter 9
- 1 Abakkolinso Chapter 7
- 1 Abakkolinso Chapter 4
- 1 Abakkolinso Chapter 2
- 1 Abakkolinso Chapter 16
- 1 Abakkolinso Chapter 13
Explore More from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 16
- 1 Abakkolinso Chapter 7
- Makko Chapter 16
- Abaggalatiya Chapter 6
- Abaruumi Chapter 13
- 1 Abakkolinso Chapter 5
- Matayo Chapter 10