1 Samwiri Chapter 12

For English

Read 1 Samwiri Chapter 12 Online

Read 1 Samwiri Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Samwiri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Samwiri 12

Essuula 12

1. Awo Samwiri n'agamba Isiraeri yenna nti Laba, mpulidde eddoboozi lyammwe mu byonna bye mwaŋŋamba, era nkoze kabaka okubafuga.

2. Era, laba, kaakano kabaka atambulira mu maaso gammwe: nange ndi mukadde, mmeze n'envi; era, laba, batabani bange bali nammwe: era natambulira mu maaso gammwe okuva mu buto bwange ne leero.

3. Nze nzuuno: munnumiririze mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'oyo gwe yafukako amafuta: ani gwe nnanyagako ente ye? oba ani gwe nnanyagako endogoyi ye? oba ani gwe nnali ndyazaamaanyizza? ani gwe nnali njooze? oba ani gwe nnatoolako mu ngalo ze enguzi okunzibya amaaso nange naabasasula.

4. Ne boogera nti Totulyazaamaanyanga so totujooganga, so totoolanga kintu mu ngalo z'omuntu yenna.

5. N'abagamba nti Mukama ye mujulirwa gye muli n'oyo gwe yafukako amafuta ye mujulirwa leero nga mmwe temulabye kintu mu mukono gwange. Ne boogera nti Ye mujulirwa.

6. Samwiri n'agamba abantu nti Ye Mukama eyassaawo Musa ne Alooni era eyaggya bajjajjammwe mu nsi y'e Misiri.

7. Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mpoze nammwe mu maaso ga Mukama olw'ebikolwa byonna eby'obutuukirivu ebya Mukama bye yakola mmwe ne bajjajjammwe.

8. Yakobo bwe yali atuuse mu Misiri, bajjajjammwe ne bakaabira Mukama, awo Mukama n'atuma Musa ne Alooni eyaggya bajjajjammwe mu Misiri n'abatuuza mu kifo muno.

9. Naye ne beerabira Mukama Katonda waabwe, n'abatunda mu mukono gwa Sisera, omwami w'eggye lya Kazoli ne mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gwa kabaka wa Mowaabu, ne balwana nabo.

10. Awo ne bakaabira Mukama ne boogera nti Twayonoona kubanga twaleka Mukama ne tuweereza Babaali ne Baasutaloosi; naye kaakano tulokole mu mukono gw'abalabe baffe, tulyoke tukuweereze.

11. Awo Mukama n'atuma Yerubbaali ne Bedani ne Yefusa ne Samwiri, n'abalokola mu mukono gw'abalabe bammwe enjuyi zonna, ne mutuula mirembe.

12. Awo bwe mwalaba nga Nakkasi kabaka w'abaana ba Amoni ng'abatabadde, ne muŋŋamba nti Nedda, naye kabaka ye alitufuga: Mukama Katonda wammwe nga ye kabaka wammwe.

13. Kale nno kaakano laba kabaka gwe mulonze era gwe musabye: era, laba, Mukama ataddewo kabaka okubafuga.

14. Bwe munaatyanga Mukama ne mumuweerezanga ne muwuliranga eddoboozi lye ne mutajeemeranga kiragiro kya Mukama, mmwe era ne kabaka abafuga ne mugobereranga Mukama Katonda wammwe; kale:

15. naye bwe mutaawulirenga ddoboozi lya Mukama, naye ne mujeemeranga ekiragiro kya Mukama, awo omukono gwa Mukama gunaalwananga nammwe nga bwe gwalwananga ne bajjajjammwe.

16. Kale nno kaakano muyimirire buyimirizi mulabe ekigambo kino ekikulu Mukama ky'anaakolera mu maaso gammwe.

17. Leero si ge makungula g'eŋŋaano? Naasaba Mukama aweereze okubwatuka n'enkuba: awo munaamanya ne mulaba ng'obubi bwammwe bunene bwe mwakola mu maaso ga Mukama nga mwesabira kabaka.

18. Awo Samwiri n'asaba Mukama; Mukama n'aweereza okubwatuka n'enkuba ku lunaku olwo: abantu bonna ne batya nnyo Mukama ne Samwiri.

19. Abantu bonna ne bagamba Samwiri nti Sabira abaddu bo eri Mukama Katonda wo tuleme okufa: kubanga twongedde ku bibi byaffe byonna n'ekibi kino, okwesabira kabaka.

20. Samwiri n'agamba abantu nti Temutya: okukola mwakola ekibi kino kyonna: naye temukyamanga obutagobereranga Mukama, naye muweerezenga Mukama n'omutima gwammwe gwonna;

21. so temukyamanga: kubanga kwe kwandibadde okugoberera ebitaliimu ebitayinza kugasa newakubadde okulokola, kubanga tebiriimu.

22. Kubanga Mukama taayabulirenga bantu be olw'erinnya lye ekkulu: kubanga Mukama yasiima okubeefuulira yekka eggwanga.

23. Era nze kiddire eri nze okusobya ku Mukama nga ndekayo okubasabira: naye naabayigirizanga ekkubo eddungi eggolokofu.

24. Kyokka mutyenga Mukama mumuweererezenga mu mazima n'omutima gwammwe gwonna: kubanga mulowooze ebigambo bye yabakolera bwe byenkana obukulu.

25. Naye bwe muneeyongeranga okukola ebibi, mulizikirira mmwe era ne kabaka wammwe.

About 1 Samwiri Chapter 12

Read 1 Samwiri Chapter 12 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Samwiri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Samwiri
Chapter: 12
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Samwiri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Samwiri Chapter 12 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Samwiri Chapter 12?

1 Samwiri Chapter 12 is part of the Book of 1 Samwiri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Samwiri Chapter 12 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1-samwiri

  1. 1 Samwiri Chapter 15
  2. 1 Samwiri Chapter 6
  3. 1 Samwiri Chapter 25
  4. 1 Samwiri Chapter 10
  5. 1 Samwiri Chapter 9
  6. 1 Samwiri Chapter 27
  7. 1 Samwiri Chapter 20

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Zabbuli Chapter 7
  2. Yobu Chapter 33
  3. Isaaya Chapter 14
  4. Zabbuli Chapter 79
  5. Isaaya Chapter 23
  6. Yeremiya Chapter 25
  7. 2 Bassekabaka Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Ekyabalamuzi Chapter 18
  2. Zabbuli Chapter 133
  3. Zabbuli Chapter 53
  4. Isaaya Chapter 2
  5. Yobu Chapter 25
  6. Zabbuli Chapter 69
  7. Ekyamateeka Chapter 21
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *