Kaabakuuku Chapter 1

For English

Read Kaabakuuku Chapter 1 Online

Read Kaabakuuku Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Kaabakuuku in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Kaabakuuku and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Kaabakuuku 1

Essuula 1

1. Omugugu Kaabakuuku nnabbi gwe yalaba.

2. Ai Mukama, ndituusa wa okukaaba, naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira olw'eby'ekyejo so tokkiriza kulokola.

3. Onjoleseza ki obutali butuukirivu n'otunuulira obukyamu? kubanga okunyaga n'ekyejo biri mu maaso gange: era waliwo empaka, n'okuyomba kubaawo.

4. Amateeka kye gavudde gaddirira, so n'omusango tegufulumanga n'akatono; kubanga omubi azingizza omutuukirivu omusango kyeguva gufuluma nga gunyooleddwa.

5. Mulabe mu mawanga, musseeyo omwoyo, mwewuunye nnyo nnyini: kubanga nkolera omulimu mu nnaku zammwe, gwe mutalikkiriza newakubadde nga mugubuuliddwa.

6. Kubanga, laba, ngolokosa Abakaludaaya, eggwanga eryo ekkakali eryanguyiriza; abasimba ennyiriri okutambula okubunya ensi bwe yenkana obugazi, okulya ennyumba ezitali zaabwe.

7. Ba ntiisa, ba kitiibwa: omusango gwabwe n'obukulu bwabwe biva eri bo bennyini.

8. Era embalaasi zaabwe zikira engo embiro, era nkambwe okusinga emisege egy'ekiro; n'abasajja baabwe abeebagala embalaasi bagoma: weewaawo, abasajja baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'empungu eyanguwa okulya.

9. Bajja lwa kyejo bonna; bavulumula amaaso gaabwe ng'embuyaga ez'ebuvanjuba; era bakuŋŋaanya abasibe ng'omusenyu.

10. Weewaawo, asekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gy'ali: aduulira buli kigo; kubanga atuuma enfuufu n'akimenya.

11. Awo aliyita ng'awulukuka ng'embuyaga, era alisukkirira n'azza omusango: ye amaanyi ge gabeera katonda we.

12. Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ai Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? tetulifa. Ai Mukama, wamuteekerawo musango; naawe, ai Olwazi, wamunywereza kubuulirira.

13. Ggwe alina amaaso agayinze obulongoofu obutatunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi bw'aliira ddala omuntu amusinga obutuukirivu;

14. n'ofuula abantu ng'ebyennyanja era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga?

15. Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye: kyava asanyuka n'ajaguza.

16. Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye n'eba nnyingi.

17. Kale kyaliva afuka omuya gwe, n'atalekaayo kutta amawanga olutata?

About Kaabakuuku Chapter 1

Read Kaabakuuku Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Kaabakuuku in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Kaabakuuku
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Kaabakuuku. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Kaabakuuku Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Kaabakuuku Chapter 1?

Kaabakuuku Chapter 1 is part of the Book of Kaabakuuku in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Kaabakuuku Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from Kaabakuuku

  1. Kaabakuuku Chapter 2
  2. Kaabakuuku Chapter 3

Related Chapters & Readings

  1. 1 Bassekabaka Chapter 19
  2. Abaggalatiya Chapter 5
  3. 2 Bassekabaka Chapter 9
  4. 2 Samwiri Chapter 16
  5. 1 Bassekabaka Chapter 13
  6. Olubereberye Chapter 32
  7. Zabbuli Chapter 66
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *