Ezekyeri Chapter 3

For English

Read Ezekyeri Chapter 3 Online

Read Ezekyeri Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezekyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ezekyeri 3

Essuula 3

1. Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, lya ekyo ky'osanga; lya omuzingo guno, ogende ogambe ennyumba ya Isiraeri.

2. Awo ne njasama akamwa kange n'andiisa omuzingo.

3. N'aŋŋamba nti omwana w'omuntu, liisa olubuto lwo, ojjuze ebyenda byo omuzingo guno gwe nkuwa. Kale ne ngulya, ne guba mu kamwa kange ng'omubisi gw'enjuki okuwoomerera.

4. Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, genda otuuke eri ennyumba ya Isiraeri, oyogere nabo ebigambo byange.

5. Kubanga totumiddwa eri eggwanga ery'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, wabula eri ennyumba ya Isiraeri;

6. si eri amawanga amangi ab'enjogera gy'otomanyi era ab'olulimi oluzibu, b'otoyinza kutegeera bigambo byabwe. Mazima singa nkubatumidde bo, bandikuwulidde.

7. Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze: kubanga ennyumba yonna eya Isiraeri ba kyenyi kikalubo era ba mutima mukakanyavu.

8. Laba, nkalubizza amaaso go awali amaaso gaabwe, n'ekyenyi kyo nkikalubizza awali ekyenyi kyabwe.

9. Nfudde ekyenyi kyo ng'alimasi okukaluba okusinga ejjinja ery'embaalebaale: tobatyanga, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.

10. Era nate n’aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, ebigambo byange byonna bye ndikubuulira, bikkirize mu mutima gwo, owulire n'amatu go.

11. Era genda otuuke eri abo ab'obusibe, eri abaana ab'abantu bo, oyogere nabo obabuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo.

12. Awo omwoyo ne gunsitula, ne mpulira ennyuma wange eddoboozi ery'okuwulukuka okunene nga lyogera nti Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe okuva mu kifo kye.

13. Awo ne mpulira okuwuuma kw'ebiwaawaatiro by'ebiramu nga bikomaganako, n'okuwuuma kwa bannamuziga ku mabbali gaabyo, okuwuuma kw'okuwulukuka okunene.

14. Awo omwoyo ne gunsitula ne guntwala: ne ŋŋenda nga ndiko obuyinike n'omwoyo gwange nga gubugumye, omukono gw'a Mukama ne guba gw'amaanyi ku nze.

15. Awo ne ndyoka njija eri ab'obusibe e Terabibu, abaabeera ku mugga Kebali, ne mu kifo mwe baabeera; ne ntuula awo mu bo nga nsamaaliridde ne mmala ennaku musanvu.

16. Awo olwatuuka ennaku musanvu bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti

17. Omwana w'omuntu nkufudde omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky’omu kamwa kange, obawe okulaba okuva gye ndi.

18. Bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; naawe n'otomulabula so toyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye ebbi okuwonya obulamu bwe: omubi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.

19. Era naye bw'olabula omubi, n’atakyuka okuleka obubi bwe newakubadde okuva mu kkubo lye ebbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye ggwe ng'owonyezza emmeeme yo.

20. Nate omuntu omutuukirivu bw'akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, nange ne nteeka enkonge mu maaso ge, alifa: kubanga tomulabudde, alifiira mu kibi kye, n'ebikolwa bye ebituukirivu bye yakola tebirijjukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo.

21. Era naye bw'olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleme okukola ekibi n'atakola kibi, mazima aliba mulamu, kubanga alabuse; naawe ng'owonyezza emeeme yo.

22. Awo omukono gw'a Mukama ne guba ku nze eyo; n'aŋŋamba nti Golokoka ofulume ogende mu lusenyi, nange ndyogerera naawe eyo.

23. Awo ne ngolokoka ne nfuluma ne ŋŋenda mu lusenyi kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kiyimiridde eyo, ng'ekitiibwa bwe kyali kye nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali ne nvuunama amaaso gange.

24. Awo omwoyo ne guyingira mu nze ne gunnyimiriza ku bigere byange, n'ayogera nange n'aŋŋamba nti Genda weggalire mu nnyumba yo.

25. Naye ggwe, omwana w'omuntu, laba, balikussaako enjegere, ne bazikusibisa, so tolifuluma mu bo:

26. era ndyegassa olulimi lwo n'ekibuno kyo, obeere kasiru era oleme okubeera gye bali anenya: kubanga nnyumba njeemu.

27. Naye bwe njogera naawe, ndyasamya akamwa ko, naawe olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Awulira awulire; n'oyo alekayo alekeyo; kubanga nnyumba njeemu.

About Ezekyeri Chapter 3

Read Ezekyeri Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezekyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ezekyeri
Chapter: 3
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezekyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ezekyeri Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ezekyeri Chapter 3?

Ezekyeri Chapter 3 is part of the Book of Ezekyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ezekyeri Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 12
  2. Engero Chapter 23
  3. Engero Chapter 19
  4. Engero Chapter 7
  5. Engero Chapter 25
  6. Engero Chapter 17
  7. Engero Chapter 14

Explore More from Ezekyeri

  1. Ezekyeri Chapter 7
  2. Ezekyeri Chapter 21
  3. Ezekyeri Chapter 17
  4. Ezekyeri Chapter 18
  5. Ezekyeri Chapter 30
  6. Ezekyeri Chapter 36
  7. Ezekyeri Chapter 2

Related Chapters & Readings

  1. Lukka Chapter 9
  2. Yokaana Chapter 11
  3. Abaggalatiya Chapter 5
  4. 1 Bassekabaka Chapter 16
  5. Matayo Chapter 23
  6. Engero Chapter 14
  7. Eseza Chapter 5
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *