2 Bassekabaka Chapter 1

For English

Read 2 Bassekabaka Chapter 1 Online

Read 2 Bassekabaka Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Bassekabaka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Bassekabaka 1

Essuula 1

1. Awo Mowaabu n'ajeemera Isiraeri Akabu ng'amaze okufa.

2. Akaziya n'agwa mu kituli ekiruke ekyali mu kisenge kye ekya waggulu ekyali mu Samaliya, n'alwala: n'atuma ababaka, n'abagamba nti Mugende mulagulwe eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni oba nga ndiwona endwadde eno.

3. Naye malayika wa Mukama n'agamba Eriya Omutisubi nti Golokoka osisinkane ababaka ba kabaka w'e Samaliya obagambe nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyemuva mugenda okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni?

4. Kale nno, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Toliva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa. Eriya n'agenda.

5. Ababaka ne bakomawo gy'ali, n'abagamba nti Kiki ekibakomezzaawo?

6. Ne bamugamba nti Wazze omusajja okutusisinkana n'atugamba nti Mugende muddeeyo eri kabaka abatumye, mumugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyova otuma okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? kyoliva olema okuva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa.

7. N'abagamba nti Omusajja azze okubasisinkana n'ababuulira ebigambo ebyo afaananye atya?

8. Ne bamuddamu nti Yali musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye.

9. Awo kabaka n'atuma gy'ali omwami w'ataano n'abasajja be ataano. N'ayambuka gy'ali: kale, laba, ng'atudde ku ntikko y'olusozi. N'ayogera naye nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka ayogedde nti Serengeta.

10. Awo Eriya n'addamu n'agamba omwami w'ataano nti Oba ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano. Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano.

11. Awo n'atuma nate gy'ali omwami w'ataano omulala n'abasajja be ataano. N'addamu n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, bw'atyo kabaka bw'ayogedde nti Yanguwa okuserengeta.

12. Awo Eriya n'addamu n'abagamba nti Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano. Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano.

13. Awo n'atuma nate omwami w'ataano abalala n'abasajja be ataano. Omwami w'ataano ow'okusatu n'ayambuka n'ajja n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eriya, n'amwegayirira n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde, obulamu bwange n'obulamu bwa bano ataano abaddu bo bube bwa muwendo mungi mu maaso go.

14. Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abaami b'ataano bombi abaasoose n'abasajja baabwe ataano: naye kaakano obulamu bwange bube bwa muwendo mungi mu maaso go.

15. Awo malayika wa Mukama n'agamba Eriya nti Serengeta naye tomutya. N'agolokoka n'aserengeta naye n'agenda eri kabaka.

16. N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga watuma ababaka okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni, kubanga tewali katonda mu Isiraeri okulagulwa eri ekigambo kye kyewava okola bw'otyo? kyoliva olema okuva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa.

17. Awo n'afa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali Eriya kye yayogera. Yekolaamu n'atanula okufuga mu kifo kye mu mwaka ogw'okubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda; kubanga teyalina mwana wa bulenzi.

18. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akaziya bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?

About 2 Bassekabaka Chapter 1

Read 2 Bassekabaka Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Bassekabaka
Chapter: 1
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Bassekabaka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Bassekabaka Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Bassekabaka Chapter 1?

2 Bassekabaka Chapter 1 is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Bassekabaka Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-bassekabaka

  1. 2 Bassekabaka Chapter 18
  2. 2 Bassekabaka Chapter 10
  3. 2 Bassekabaka Chapter 7
  4. 2 Bassekabaka Chapter 5
  5. 2 Bassekabaka Chapter 17
  6. 2 Bassekabaka Chapter 14
  7. 2 Bassekabaka Chapter 25

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Ebyabaleevi Chapter 18
  2. Ebyabaleevi Chapter 5
  3. Isaaya Chapter 49
  4. Ezekyeri Chapter 30
  5. 1 Ebyomumirembe Chapter 7
  6. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 4
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. Lukka Chapter 18
  2. Zekkaliya Chapter 2
  3. Amosi Chapter 7
  4. 2 Samwiri Chapter 4
  5. Omubuulizi Chapter 7
  6. Ekyabalamuzi Chapter 14
  7. Zabbuli Chapter 1
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *