Read 2 Ebyomumirembe Chapter 22 Online
Read 2 Ebyomumirembe Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Ebyomumirembe 22
Essuula 22
1. Awo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya omwana we omuto kabaka mu kifo kye: kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'afuga.
2. Akaziya yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli.
3. Era naye n'atambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu: kubanga nnyina ye yamuweereranga okukola obubi.
4. N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuweereranga, kitaawe ng'amaze okufa, okumuzikiriza.
5. Era yatambulanga ng'okuteesa kwabwe bwe kwali n'agenda ne Yekolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
6. Awo n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Azaliya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yekolaamu mutabani wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwadde:
7. Era okuzikirira kwa Akaziya kwava eri Katonda, kubanga yagenda eri Yolaamu: kubanga bwe yajja, n'agenda ne Yekolaamu eri Yeeku mutabani wa Nimusu Mukama gwe yali afuseeko amafuta okumalawo ennyumba ya Akabu.
8. Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'akomekkereza omusango ku nnyumba ya Akabu n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya nga baweereza Akaziya, n'abatta.
9. N'anoonya Akaziya ne bamukwata, (era yali nga yeekwese mu Samaliya,) ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta; ne bamuziika, kubanga baayogera nti Ye mutabani wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna. Ennyumba ya Akaziya n'eteba na maanyi okunyweeza obwakabaka.
10. Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n’agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka ery'ennyumba ya Yuda.
11. Naye Yekosabeyaasi muwala wa kabaka n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n'amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, n'amuteeka n'omulezi we, mu kisenge ekisulibwamu. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu muka Yekoyaada kabona, (kubanga yali muganda wa Akaziya,) n'amukweka Asaliya, n'atamutta.
12. Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya n'afuga ensi.
About 2 Ebyomumirembe Chapter 22
Read 2 Ebyomumirembe Chapter 22 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 22
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 22 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Ebyomumirembe Chapter 22?
2 Ebyomumirembe Chapter 22 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 22 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2 Ebyomumirembe
- 2 Ebyomumirembe Chapter 34
- 2 Ebyomumirembe Chapter 19
- 2 Ebyomumirembe Chapter 9
- 2 Ebyomumirembe Chapter 15
- 2 Ebyomumirembe Chapter 14
- 2 Ebyomumirembe Chapter 10
- 2 Ebyomumirembe Chapter 6
Explore More from Endagaano Enkadde
- 1 Bassekabaka Chapter 20
- 1 Bassekabaka Chapter 5
- Isaaya Chapter 52
- Okubala Chapter 6
- Isaaya Chapter 57
- Zabbuli Chapter 73
- Zekkaliya Chapter 1