Read 2 Ebyomumirembe Chapter 14 Online
Read 2 Ebyomumirembe Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Ebyomumirembe and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
2 Ebyomumirembe 14
Essuula 14
1. Awo Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'etereerera emyaka kkumi.
2. Asa n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby'ensonga:
3. kubanga yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n'ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n’atemaatema ba Asera;
4. n'alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okukwata amateeka n'ekiragiro.
5. Era n'aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda ebifo ebigulumivu n'ebifaananyi by'enjuba: obwakabaka ne butereera mu maaso ge.
6. N'azimba ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: kubanga ensi yali eteredde so teyalina ntalo mu myaka egyo; kubanga Mukama yamuwa okuwummula.
7. Kubanga yagamba Yuda nti Tuzimbe ebibuga bino, tubikoleko bbugwe n'ebigo, enzigi n'ebisiba; ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna. Awo ne bazimba ne balaba omukisa.
8. Era Asa yalina eggye abaakwatanga engabo n'amafumu, abaava mu Yuda obusiriivu busatu; n'abaava mu Benyamini abaakwatanga engabo ne banaanuula emitego, obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: abo bonna basajja ba maanyi abazira.
9. Zeera Omwesiyopya n'abatabaala ng'alina eggye kakadde n'amagaaii ebikumi bisatu; n'ajja e Malesa.
10. Awo Asa n'afuluma okumusisinkana, ne basimba ennyiriri mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
11. Asa n'akaabira Mukama Katonda we n'ayogera nti Mukama, tewali muyambi akwenkana ggwe wakati w'abalina (abalwanyi) abangi, n'abo abatalina maanyi: tuyambe, ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga.
12. Awo Mukama n'akuba Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka.
13. Asa n'abantu be abaali naye ne babacocca ne babatuusa e Gerali: ne kugwa ku Baesiyopya bangi bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kuddamu amaanyi; kubanga baazikirizibwa mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'eggye lye; ne banyaga omunyago mungi nnyo.
14. Ne bakuba ebibuga byonna ebyetoolodde Gerali; kubanga entiisa ya Mukama yabatuukako: ne banyaga ebibuga byonna: kubanga byalimu omunyago mungi.
15. Era ne bakuba eweema ez'ente, ne banyaga endiga nnyingi nnyo n'eŋŋamira, ne baddayo e Yerusaalemi.
About 2 Ebyomumirembe Chapter 14
Read 2 Ebyomumirembe Chapter 14 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 2 Ebyomumirembe
Chapter: 14
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Ebyomumirembe. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 2 Ebyomumirembe Chapter 14 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 2 Ebyomumirembe Chapter 14?
2 Ebyomumirembe Chapter 14 is part of the Book of 2 Ebyomumirembe in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 2 Ebyomumirembe Chapter 14 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 2 Ebyomumirembe
- 2 Ebyomumirembe Chapter 34
- 2 Ebyomumirembe Chapter 19
- 2 Ebyomumirembe Chapter 9
- 2 Ebyomumirembe Chapter 15
- 2 Ebyomumirembe Chapter 10
- 2 Ebyomumirembe Chapter 6
- 2 Ebyomumirembe Chapter 22
Explore More from Endagaano Enkadde
- Zekkaliya Chapter 5
- 2 Bassekabaka Chapter 17
- Isaaya Chapter 6
- Yobu Chapter 30
- Luusi Chapter 1
- 2 Bassekabaka Chapter 7
- Yeremiya Chapter 1