Read 1 Abakkolinso Chapter 5 Online
Read 1 Abakkolinso Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Abakkolinso and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
1 Abakkolinso 5
Essuula 5
1. N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawaaga, omuntu okubeera ne mukazi wa kitaawe.
2. Nammwe mwegulumizizza; so temwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe.
3. Kubanga nze bwe ssibaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo bw'atyo,
4. mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye n'omwoyo gwange awamu n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu,
5. okuwaayo ali bw'atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gulokoke ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
6. Okwenyumiriza kwammwe si kulungi: Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?
7. Muggyeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubanga era n'Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo:
8. kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky'edda, newakubadde n'ekizimbulukusa eky'ettima n'obubi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.
9. Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi;
10. so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi:
11. naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenna ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye.
12. Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Mmwe temusalira musango ba munju?
13. Naye ab'ebweru Katonda ye abasalira omusango. Omubi oyo mumuggye mu mmwe.
About 1 Abakkolinso Chapter 5
Read 1 Abakkolinso Chapter 5 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: 1 Abakkolinso
Chapter: 5
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading 1 Abakkolinso Chapter 5 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is 1 Abakkolinso Chapter 5?
1 Abakkolinso Chapter 5 is part of the Book of 1 Abakkolinso in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete 1 Abakkolinso Chapter 5 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from 1 Abakkolinso
- 1 Abakkolinso Chapter 1
- 1 Abakkolinso Chapter 16
- 1 Abakkolinso Chapter 13
- 1 Abakkolinso Chapter 14
- 1 Abakkolinso Chapter 10
- 1 Abakkolinso Chapter 9
- 1 Abakkolinso Chapter 8
Explore More from Endagaano Empya
- Okubikkulirwa Chapter 2
- 1 Abakkolinso Chapter 13
- Abaruumi Chapter 4
- Yokaana Chapter 2
- Abaebbulaniya Chapter 8
- Okubikkulirwa Chapter 22
- 2 Abakkolinso Chapter 11