Read Abaefeeso Chapter 3 Online
Read Abaefeeso Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaefeeso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaefeeso and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Abaefeeso 3
Essuula 3
1. Kale nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga, –
2. oba mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa eri mmwe;
3. bwe nnategeezebwa ekyama mu kubikkulirwa, nga bwe nnawandiika edda mu bigambo ebitono,
4. ebiyinza okubategeeza, bwe mubisoma, okumanya kwange mu kyama kya Kristo;
5. ekitaategeezebwa mu mirembe egy'edda abaana b'abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo;
6. ab'amawanga okubeera abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'enjiri,
7. gye nnafuukira omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli.
8. Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka;
9. n'okumulisizanga bonna balabe okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna;
10. kaakano abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu bategeezebwe mu kkanisa amagezi amangi aga Katonda ag'engeri ennyingi,
11. ng'okumalirira bwe kuli mu Kristo Yesu Mukama waffe:
12. mwe tuggya obuvumu bwaffe n'okusembera n'obugumu olw'okumukkiriza ye.
13. Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe.
14. Kyenva nfukaamirira Kitaffe,
15. buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya,
16. abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda:
17. Kristo atuulenga mu mitima g'yammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi munywezebwenga mu kwagala,
18. mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri,
19. n’okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mutuukirire okutuusa okutuukirira kwonna okwa Katonda.
20. Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe,
21. aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina.
About Abaefeeso Chapter 3
Read Abaefeeso Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaefeeso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Abaefeeso
Chapter: 3
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaefeeso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Abaefeeso Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Abaefeeso Chapter 3?
Abaefeeso Chapter 3 is part of the Book of Abaefeeso in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Abaefeeso Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from abaefeeso
Explore More from Endagaano Empya
- Matayo Chapter 17
- Yakobo Chapter 2
- Abaebbulaniya Chapter 5
- Lukka Chapter 4
- Abafiripi Chapter 2
- Matayo Chapter 16
- Yokaana Chapter 2