Abakkolosaayi Chapter 4

For English

Read Abakkolosaayi Chapter 4 Online

Read Abakkolosaayi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abakkolosaayi in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abakkolosaayi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abakkolosaayi 4

Essuula 4

1. Bakama baabwe, mugabirenga abaddu bammwe eby'obutuukirivu n'okwenkanyankanyanga; nga mumanyi nga era nammwe mulina Mukama wammwe mu ggulu.

2. Munyiikirirenga mu kusaba, nga mutunulanga mu kusaba mu kwebaza;

3. nate nga mutusabira naffe, Katonda okutuggulirawo oluggi olw'ekigambo, okwogera ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nnasibirwa;

4. ndyoke nkyolesenga, nga bwe kiŋŋwanidde okwogera.

5. Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ebweru, nga mweguliranga ebbanga.

6. Ebigambo byammwe bibeerenga n'ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.

7. Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa era muddu munnaffe mu Mukama waffe, alibategeeza ebifa gye ndi byonna:

8. gwe ntuma gye muli olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli era asanyuse emyoyo gyammwe;

9. wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omwagalwa, ow'ewammwe. Balibategeeza ebifa wano byonna.

10. Alisutaluuko, musibe munnange, abalamusizza, ne Makko, mujjwa wa Balunabba, (gwe mwalagirwa; bw'alijja gye muli, mumwanirizanga),

11. ne Yesu ayitibwa Yusito, ab'omu bakomole: abo bokka be bakozi bannange olw'obwakabaka bwa Katonda, abansanyusanga.

12. Epafula, ow'ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by'ayagala.

13. Kubanga ndi mujulirwa we ng'alina emirimu mingi ku lwammwe, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli.

14. Lukka, omusawo omwagalwa, ne Dema babalamusizza.

15. Mulamuse ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekkanisa ey'omu nnyumba yaabwe.

16. Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu mmwe, era mugisomere ne mu kkanisa ey'Abalawodikiya; era nammwe musome eriva mu Lawodikiya.

17. Era mugambe Alukipo nti Weekuumenga okuweereza kwe waweebwa mu Mukama waffe, okukutuukiriza.

18. Kuno kwe kulamusa kwange n'omukono gwange nze Pawulo. Mujjukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibeerenga nammwe.

About Abakkolosaayi Chapter 4

Read Abakkolosaayi Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abakkolosaayi in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abakkolosaayi
Chapter: 4
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abakkolosaayi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abakkolosaayi Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abakkolosaayi Chapter 4?

Abakkolosaayi Chapter 4 is part of the Book of Abakkolosaayi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abakkolosaayi Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Abakkolosaayi

  1. Abakkolosaayi Chapter 1
  2. Abakkolosaayi Chapter 3
  3. Abakkolosaayi Chapter 2

Explore More from Endagaano Empya

  1. Matayo Chapter 18
  2. Okubikkulirwa Chapter 9
  3. Lukka Chapter 14
  4. Matayo Chapter 8
  5. Ebikolwa Chapter 15
  6. Lukka Chapter 21
  7. Abaebbulaniya Chapter 11

Related Chapters & Readings

  1. Okubala Chapter 29
  2. 2 Ebyomumirembe Chapter 27
  3. 2 Samwiri Chapter 12
  4. Nekkemiya Chapter 13
  5. Yobu Chapter 20
  6. Zabbuli Chapter 73
  7. 2 Ebyomumirembe Chapter 21
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *