Read Matayo Chapter 18 Online
Read Matayo Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Matayo 18
Essuula 18
1. Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Kale ani omukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu?
2. N'ayita omwana omuto, n'amuyimiriza wakati waabwe,
3. n'agamba nti Mazima mbagamba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
4. Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omuto, ye mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
5. Na buli alisembeza omwana omuto omu ng'ono mu linya lyange ng'asembezezza nze:
6. naye alyesitazza ku abo abato bano abanzikiriza waakiri asibibwe mu bulago olubengo olunene, balyoke bamusuule mu buziba bw'ennyanja.
7. Zirisanga ensi olw'ebigambo ebisittaza! Kubanga ebisittaza tebirirema kujja; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekisittaza!
8. Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesittaza, kutemeko okusuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'obuzeeko omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu muliro ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombi oba amagulu gombi.
9. Era oba ng'eriiso lyo nga likwesittaza, liggyeemu, olisuule wala: kye kirungi oyingire mu bulamu ng'oli wa ttulu okusinga okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro, ng'olina amaaso gombi.
10. Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu.
11. Kubanga Omwana w'omuntu yajja okulokola ekyabula.
12. Mulowooza mutya? Omuntu bw'aba n'endiga ze ekikumi, emu ku zo bw'ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko?
13. Era bw'aba ng'agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitabuze.
14. Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.
15. Muganda wo bw'akukola obubi genda omubuulirire ggwe naye mwekka: bw'akuwulira ng'ofunye muganda wo.
16. Naye bw'atawulira, twala omulala naawe oba babiri era mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kikakate.
17. Era bw'agaana okuwulira abo buulira ekkanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekkanisa, abeere gy'oli nga munnaggwanga era omuwooza.
18. Mazima mbagamba nti Byonna bye mulisiba ku nsi birisibwa mu ggulu: era byonna bye mulisumulula ku nsi birisumululibwa mu ggulu.
19. Nate mbagamba nti Oba bannammwe babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonna kye balisaba, kiribakolerwa Kitange ali mu ggulu.
20. Kubanga we baba ababiri oba basatu nga bakuŋŋaanye mu linnya lyange, nange ndi awo wakati waabwe.
21. Awo Peetero n'ajja, n'amugamba nti Mukama wange, muganda wange bw'annyonoonanga, nnaamusonyiwanga emirundi emeka? okutuusa emirundi musaanvu?
22. Yesu n'amugamba nti Sikugamba nti Okutuusa emirundi musanvu; naye nti Okutuusa emirundi ensanvu emirundi omusanvu.
23. Obwakabaka obw'omu ggulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyali kabaka, eyayagala okubala omuwendo n'abaddu be.
24. Bwe yasooka okubala, ne bamuleetera omu, gw'abanja ettalanta akakumi.
25. Naye kubanga teyalina kya kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, ne mukazi we, n'abaana be, n'ebintu byonna by'ali nabyo, ebbanja liggwe.
26. Awo omuddu n'agwa wansi n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mmanja npola, nange ndikusasula byonna.
27. Mukama w'omuddu oyo n'amusaasira, n'amuta, n'amusonyiwa ebbanja.
28. Naye omuddu oyo n'afuluma, n'asanga muddu munne, gwe yali abanja eddinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu bulago, ng'agamba nti Sasula ebbanja lyange.
29. Awo muddu munne n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'agamba, nti Mmanja mpola, nange ndikusasula.
30. N'atakkiriza: naye n'agenda n'amuteeka mu kkomera, amale okusasula ebbanja.
31. Awo baddu banne bwe baalaba bwe bibadde, ne banakuwala nnyo, ne bagenda ne babuulira mukama waabwe ebigambo byonna ebibaddeyo.
32. Awo mukama we n'amuyita n'amugamba nti Ggwe omuddu omubi, nakusonyiwa ebbanja liri lyonna, kubanga wanneegayirira:
33. naawe tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?
34. Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula ebbanja lyonna.
35. Bw'atyo Kitange ali mu ggulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.
About Matayo Chapter 18
Read Matayo Chapter 18 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Matayo
Chapter: 18
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Matayo Chapter 18 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Matayo Chapter 18?
Matayo Chapter 18 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Matayo Chapter 18 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 1
- Ebikolwa Chapter 27
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from matayo
- Matayo Chapter 24
- Matayo Chapter 9
- Matayo Chapter 4
- Matayo Chapter 21
- Matayo Chapter 22
- Matayo Chapter 16
- Matayo Chapter 26