Read Matayo Chapter 3 Online
Read Matayo Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Matayo 3
Essuula 3
1. Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja ng'abuulirira mu ddungu ery'e Buyudaaya,
2. ng'agamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
3. Kubanga oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.
4. Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yali nzige na mubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
5. Awo ne bava e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya wonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali;
6. n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7. Naye bwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajjirira okubatiza kwe n'abagamba nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
8. Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya;
9. temulowooza kwogera mu mitima nti Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.
10. Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti: buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro.
11. Nze mbabatiza na mazzi olw'okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
12. Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.
13. Awo Yesu n'ava e Ggaliraaya, n'atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize.
14. Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng'agamba nti Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gye ndi?
15. Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna. N'alyoka amukkiriza.
16. Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye;
17. laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.
About Matayo Chapter 3
Read Matayo Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Matayo
Chapter: 3
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Matayo Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Matayo Chapter 3?
Matayo Chapter 3 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Matayo Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Ebikolwa Chapter 28
Explore More from matayo
- Matayo Chapter 10
- Matayo Chapter 14
- Matayo Chapter 20
- Matayo Chapter 18
- Matayo Chapter 24
- Matayo Chapter 23
- Matayo Chapter 2