Read Matayo Chapter 2 Online
Read Matayo Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Matayo 2
Essuula 2
1. Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi,
2. nga bagamba nti Ali ludda wa oyo eyazaalibwa Kabaka w'Abayudaaya? Kubanga twalaba emmunyeenye ebuvanjuba, ne tujja okumusinza.
3. Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna.
4. N'akuŋŋanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza nti Kristo alizaalibwa wa?
5. Nabo ne bamugamba nti Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya: kubanga bwe kyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti
6. Naawe Besirekemu, ensi ya Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda: Kubanga afuga aliva mu ggwe, Alirunda abantu bange Isiraeri.
7. Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okulabika.
8. N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti Mugende munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke njije mmusinze.
9. Bwe baawulira kabaka, ne bagenda; laba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, n'ejja n'eyimirira waggulu omwana w'ali.
10. Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essaayu lingi nnyo.
11. Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu.
12. Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode ne baddayo ewaabwe mu kkubo eddala.
13. Laba, bwe baamala okugenda malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, ng'amugamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba; kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.
14. Naye n'azuukuka n'atwala omwana ne nnyina ekiro n'agenda e Misiri;
15. n'abeera eyo okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti Nnayita omwana wange okuva mu Misiri.
16. Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamuduulira n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaakamala emyaka ebiri n'abatannaba kutuusa egyo, ng'ebiro bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi bwe byali.
17. Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira, bwe yagamba nti
18. Eddoboozi lyawulirwa mu Laama, Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; So teyayagala kukubagizibwa, kubanga tewakyali.
19. Naye Kerode bwe yamala okufa, laba, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri,
20. ng'agamba nti Golokoka, otwale omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Isiraeri: kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.
21. N'agolokoka, n'atwala omwana n'e nnyina, n'ajja mu nsi ya Isiraeri.
22. Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Naye Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'ayita ku luuyi lwe Ggaliraaya,
23. n'ajja n'abeera mu kyalo, erinnya lyakyo Nazaaleesi: ekigambo bannabbi kye baayogera kituukirire, nti Aliyitibwa Munazaalaayo.
About Matayo Chapter 2
Read Matayo Chapter 2 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Matayo
Chapter: 2
Testament: New Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Matayo Chapter 2 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Matayo Chapter 2?
Matayo Chapter 2 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Matayo Chapter 2 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Empya
- Ebikolwa Chapter 4
- Ebikolwa Chapter 3
- Ebikolwa Chapter 13
- Ebikolwa Chapter 11
- Ebikolwa Chapter 8
- Ebikolwa Chapter 2
- Yakobo Chapter 5
Explore More from matayo
- Matayo Chapter 20
- Matayo Chapter 9
- Matayo Chapter 22
- Matayo Chapter 11
- Matayo Chapter 12
- Matayo Chapter 16
- Matayo Chapter 4