Matayo Chapter 1

For English

Read Matayo Chapter 1 Online

Read Matayo Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Matayo 1

Essuula 1

1. Ekitabo eky'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi, omwana wa Ibulayimu.

2. Ibulayimu yazaala lsaaka; Isaaka n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be;

3. Yuda n'azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali; Pereezi n'azaala Keezulooni; Keezulooni n'azaala Laamu;

4. Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nasoni; Nasoni n'azaala Salumooni;

5. Salumooni n'azaala Bowaazi mu Lakabu; Bowaazi n'azaala Obedi mu Luusi; Obedi n'azaala Yese;

6. Yese n'azaala Dawudi kabaka. Dawudi n'azaala Sulemaani mu muka Uliya;

7. Sulemaani n'azaala Lekobowaamu; Lekobowaamu n'azaala Abiya; Abiya n'azaala Asa;

8. Asa n'azaala Yekosafaati; Yekosafaati n'azaala Yolaamu; Yolaamu n'azaala Uzziya;

9. Uzziya n'azaala Yosamu; Yosamu n'azaala Akazi; Akasi n'azaala Kezeekiya;

10. Kezeekiya n'azaala Manaase; Manaase n'azaala Amoni; Amoni n'azaala Yosiya;

11. Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biro eby'okutwalibwa e Babulooni.

12. Oluvannyuma olw'okutwalibwa e Babulooni, Yekoniya n'azaala Seyalutyeri; Seyalutyeri n'azaala Zerubbaberi;

13. Zerubbaberi n'azaala Abiwuudi; Abiwuudi n'azaala Eriyakimu; Eriyakimu n'azaala Azoli;

14. Azoli n'azaala Sadoki; Sadoki n'azaala Akimu; Akimu n'azaala Eriwuudi;

15. Eriwuudi n'azaala Ereyazaali; Ereyazaali n'azaala Mataani; Mataani n'azaala Yakobo;

16. Yakobo n'azaala Yusufu, eyali bba Malyamu, eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.

17. Bwe gityo emirembe gyonna, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babulooni, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku kutwalibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena.

18. N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu.

19. Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, yali alowooza okumulekayo kyama.

20. Laba bwe yali alowooza bw'atyo, malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu.

21. Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye ye alirokola abantu be mu bibi byabwe.

22. Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire Mukama bye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti,

23. Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe.

24. Yusufu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika wa Mukama bwe yamulagira, n'atwala mukazi we,

25. so teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana: n'amutuuma erinnya lye YESU.

About Matayo Chapter 1

Read Matayo Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Matayo
Chapter: 1
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Matayo Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Matayo Chapter 1?

Matayo Chapter 1 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Matayo Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 13
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 4
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Ebikolwa Chapter 18

Explore More from matayo

  1. Matayo Chapter 25
  2. Matayo Chapter 8
  3. Matayo Chapter 12
  4. Matayo Chapter 17
  5. Matayo Chapter 20
  6. Matayo Chapter 27
  7. Matayo Chapter 21

Related Chapters & Readings

  1. Ekyamateeka Chapter 18
  2. 2 Abakkolinso Chapter 1
  3. Olubereberye Chapter 30
  4. Abaruumi Chapter 1
  5. Zabbuli Chapter 84
  6. Ezekyeri Chapter 27
  7. Lukka Chapter 23
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *