1 Abasessaloniika Chapter 4

For English

Read 1 Abasessaloniika Chapter 4 Online

Read 1 Abasessaloniika Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abasessaloniika in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 1 Abasessaloniika and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

1 Abasessaloniika 4

Essuula 4

1. Kale, ab'oluganda, ebisigaddeyo, tubeegayirira tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwaweebwa ffe bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula; okweyongerangako nate.

2. Kubanga mumanyi ebiragiro bwe biri bye twabalagira ku bwa Mukama waffe Yesu.

3. Kubanga ekyo Katonda ky'ayagala, okutukuzibwa kwammwe, okwewalanga obwenzi;

4. buli muntu ku mmwe okumanyanga okufuga omubiri gwe ye mu butukuvu n'ekitiibwa,

5. si mu mululu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamanyi Katonda;

6. alemenga okuyingirira muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo: kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okutegeereza ddala.

7. Kubanga Katonda teyatuyitira bugwagwa, wabula mu butukuvu.

8. Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo gwe Omutukuvu.

9. Naye okuwandiikirwa ku by'okwagalanga ab'oluganda okwo temukwetaaga: kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga;

10. kubanga n'okukola mukola bwe mutyo ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira;

11. era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga ebyammwe mmwe, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira;

12. mulyoke mutambulirenga mu mpisa ennungi eri ab'ebweru, nga temuliiko kye mwetaaga.

13. Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.

14. Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.

15. Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.

16. Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira:

17. naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

18. Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n'ebigambo bino.

About 1 Abasessaloniika Chapter 4

Read 1 Abasessaloniika Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 1 Abasessaloniika in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 1 Abasessaloniika
Chapter: 4
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 1 Abasessaloniika. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 1 Abasessaloniika Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 1 Abasessaloniika Chapter 4?

1 Abasessaloniika Chapter 4 is part of the Book of 1 Abasessaloniika in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 1 Abasessaloniika Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 1 Abasessaloniika

  1. 1 Abasessaloniika Chapter 3
  2. 1 Abasessaloniika Chapter 2
  3. 1 Abasessaloniika Chapter 1
  4. 1 Abasessaloniika Chapter 5

Explore More from Endagaano Empya

  1. Okubikkulirwa Chapter 9
  2. 1 Abakkolinso Chapter 1
  3. 2 Abakkolinso Chapter 5
  4. Ebikolwa Chapter 25
  5. Matayo Chapter 20
  6. 1 Abakkolinso Chapter 14
  7. Yokaana Chapter 16

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 21
  2. Eseza Chapter 10
  3. Okubala Chapter 9
  4. Koseya Chapter 5
  5. Kaabakuuku Chapter 1
  6. Oluyimba lwa Sulemaani Chapter 1
  7. Isaaya Chapter 35
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *