Matayo Chapter 19

For English

Read Matayo Chapter 19 Online

Read Matayo Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Matayo 19

Essuula 19

1. Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, n'ava e Ggaliraaya, n'ajja ku mbibi y'e Buyudaaya emitala wa Yoludaani;

2. ebibiina ebinene ne bimugoberera; n'abawonyeza eyo.

3. Abafalisaayo ne bajja gy'ai, ne bamukema, nga bagamba nti Omuntu ayinza okugoba mukazi we okumulanga buli kigambo?

4. N'addamu n'agamba nti Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n'omukazi,

5. n'agamba nti Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?

6. obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.

7. Ne bamugamba nti Kale, Musa ekyamulagiza ki okumuwa ebbaluwa ey'okwawukana, alyoke amugobe?

8. N'abagamba nti Olw'obukakanyavu bw'emitima gyammwe Musa kyeyava akkiriza mugobenga bakazi bammwe: naye okuva ku lubereberye tekyali bwe kityo.

9. Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze: n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.

10. Abayigirizwa ne bamugamba nti Ebigambo eby'omusajja ne mukazi we bwe biba bwe bityo, si kirungi okuwasa.

11. N'abagamba nti Abantu bonna tebayinza kukkiriza kigambo ekyo, wabula abakiweebwa.

12. Kubanga waliwo abalaawe abazaalibwa bwe batyo okuva mu mbuto za bannyaabwe; waliwo n'abalaawe abalaayibwa abantu: waliwo n'abalaawe, abeeraawa bokka olw'obwakabaka obw'omu ggulu: Ayinza okukikkiriza, akikkirize.

13. Awo ne bamuleetera abaana abato, abasseeko emikono gye, asabe: abayigirizwa ne babajunga.

14. Naye Yesu n'agamba nti Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi: kubanga abali ng’abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.

15. N'abassaako emikono n'avaayo.

16. Laba, omuntu n'ajja gy'ali n'agamba nti Mukama wange, ndikola kigambo ki ekirungi, mbeere n'obulamu obutaggwaawo?

17. N'amugamba nti Kiki ekikumbuuzisa Eky'ekigambo ekirungi? Omulungi ali Omu: naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.

18. N'amugamba nti Galuwa? Yesu n'agamba nti Tottanga, Toyendanga, Tobbanga, Towaayirizanga,

19. Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: era, Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.

20. Omulenzi n'amugamba nti Ebyo byonna nabikwata: ekimpeebuuseeko ki ate?

21. Yesu n'amugamba nti Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere.

22. Omulenzi bwe yawulira ekigambo ekyo, n'agenda ng'anakuwadde: kubanga yali alina obugagga bungi.

23. Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu.

24. Era nate mbagamba nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.

25. Abayigirizwa bwe baawulira ne beewuunya nnyo, nga bagamba nti Kale ani ayinza okulokolebwa?

26. Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.

27. Awo Peetero n'addamu n'amugamba nti Laba, ffe twaleka byonna, ne tukugoberera; kale tuliba na ki?

28. Yesu n'abagamba nti Mazima mbagamba nti Mmwe abangoberera, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye, nammwe mulituula ku ntebe ekkumi n'ebbiri, nga musalira omusango ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.

29. Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.

30. Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab’oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.

About Matayo Chapter 19

Read Matayo Chapter 19 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Matayo
Chapter: 19
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Matayo Chapter 19 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Matayo Chapter 19?

Matayo Chapter 19 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Matayo Chapter 19 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Ebikolwa Chapter 27

Explore More from matayo

  1. Matayo Chapter 3
  2. Matayo Chapter 21
  3. Matayo Chapter 22
  4. Matayo Chapter 6
  5. Matayo Chapter 4
  6. Matayo Chapter 1
  7. Matayo Chapter 18

Related Chapters & Readings

  1. Ekyamateeka Chapter 26
  2. Ekyabalamuzi Chapter 21
  3. Olubereberye Chapter 6
  4. Ekyabalamuzi Chapter 1
  5. Zekkaliya Chapter 1
  6. Koseya Chapter 11
  7. Zabbuli Chapter 28
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *