Matayo Chapter 7

For English

Read Matayo Chapter 7 Online

Read Matayo Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Matayo and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Matayo 7

Essuula 7

1. Temusalanga musango, muleme okusalirwa.

2. Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa nammwe: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe.

3. Ekikutunuuliza ki akantu akali ku liiso lya muganda wo, naye notofaayo ku njaliiro eri ku liiso lyo ggwe?

4. Oba olimugamba otya muganda wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye laba, enjaliiro ekyali ku liiso lyo ggwe?

5. Munnanfuusi ggwe, sooka oggyeko enjaliiro ku liiso lyo ggwe; olyoke olabe bulungi okuggyako akantu ku liiso lya muganda wo.

6. Temuwanga mbwa ekintu ekitukuvu, so temusuulanga luulu zammwe mu maaso ga mbizzi, zireme okuzirinnyirira n'ebigere byazo, ne zikyuka okubaluma.

7. Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo:

8. kubanga buli muntu asaba aweebwa; anoonya alaba; eyeeyanjula aliggulirwawo.

9. Oba muntu ki mu mmwe, omwana we bw'alimusaba emmere, alimuwa ejjinja;

10. oba bw'alisaba ekyennyanja, alimuwa omusota?

11. Kale mmwe, ababi, nga bwe mumanyi okuwa abaana bammwe ebintu ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa ebirungi abamusaba?

12. Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo: kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.

13. Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi, n'ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n'abo abayitamu bangi.

14. Kubanga omulyango mufunda n'ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n'abo abaliraba batono.

15. Mwekuume bannabbi ab'obulimba, abajjira mu byambalo by'endiga gye muli, naye munda gy'emisege egisikula.

16. Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya ezabbibu ku busaana, oba ettiini ku mwennyango?

17. Bwe kityo buli muti omulungi gubala ebibala birungi; naye omuti omubi gubala ebibala bibi.

18. Omuti omulungi teguyinza kubala bibala bibi, so n'omuti omubi teguyinza kubala bibala birungi.

19. Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro.

20. Kale mulibategeerera ku bibala byabwe.

21. Buli muntu aŋŋamba nti Mukama wange, Mukama wange, si ye aliyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu, wabula akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala.

22. Bangi abaliŋŋmba ku lunaku luli nti Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo, tetwagobanga dayimooni mu linnya lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu linnya lyo?

23. Ne ndyoka mbaatulira nti Sibamanyangako mmwe: muve we ndi mwenna abakola eby'obujeemu.

24. Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusajja ow'amagezi eyazimba enju ye ku lwazi:

25. enkuba n'etonnya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta; ne bikuba enju eyo; so n'etegwa; kubanga yazimbibwa ku lwazi.

26. Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusajja atalina magezi, eyazimba enju ye ku musenyu:

27. enkuba n'etonnya; mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'akunta; ne bikuba enju eyo; n'egwa: n'okugwa kwayo kwali kunene.

28. Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okuyigiriza kwe:

29. kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ng'abawandiisi baabwe.

About Matayo Chapter 7

Read Matayo Chapter 7 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Matayo in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Matayo
Chapter: 7
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Matayo. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Matayo Chapter 7 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Matayo Chapter 7?

Matayo Chapter 7 is part of the Book of Matayo in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Matayo Chapter 7 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Empya

  1. Ebikolwa Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 3
  3. Ebikolwa Chapter 13
  4. Ebikolwa Chapter 11
  5. Ebikolwa Chapter 8
  6. Ebikolwa Chapter 2
  7. Yakobo Chapter 5

Explore More from matayo

  1. Matayo Chapter 17
  2. Matayo Chapter 12
  3. Matayo Chapter 1
  4. Matayo Chapter 20
  5. Matayo Chapter 8
  6. Matayo Chapter 3
  7. Matayo Chapter 15

Related Chapters & Readings

  1. Danyeri Chapter 9
  2. Zabbuli Chapter 142
  3. Nekkemiya Chapter 2
  4. Zabbuli Chapter 90
  5. Okuva Chapter 2
  6. Abaruumi Chapter 15
  7. Okubala Chapter 35
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *