2 Abakkolinso Chapter 1

For English

Read 2 Abakkolinso Chapter 1 Online

Read 2 Abakkolinso Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Abakkolinso and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Abakkolinso 1

Essuula 1

1. Paulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, awamu n'abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna:

2. ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.

3. Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna;

4. atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.

5. Kuba ebibonyoobonyo bya Kristo nga bwe byeyongera ennyo gye tuli, era bwe kutyo n'okusanyusibwa kwaffe kweyongera nnyo ku bwa Kristo.

6. Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusanyusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebibonyoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa:

7. era okusuubira kwaffe kunywera eri mmwe; nga tumanyi nti nga bwe mussa ekimu mu bibonyoobonyo, era bwe mutyo musse ekimu ne mu kusanyusibwa.

8. Kubanga tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda eby'okubonaabona kwaffe okwatubaako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu:

9. era ffe bennyini twalimu okuddamu okw'okufa munda mu ffe, tuleme obwesige okubuteeka mu ffe fekka, wabula Katonda azuukiza abafu:

10. eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga: era gwe tusuubira edda alituwonya;

11. era mmwe bwe mubeera awamu ku lwaffe mu kusaba; bwe tulimala okuweebwa ekirabo olw'abantu abangi, abangi balyoke beebaze ku lwaffe.

12. Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, okutegeeza okw'omwoyo gwaffe, nga mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda, bwe twatambulanga mu nsi era okusinga ennyo eri mmwe.

13. Kubanga tetubawandiikira birala wabula ebyo bye musoma era n'okwatula bye mwatula, era nsuubira nga munaabyatulanga okutuusa enkomerero:

14. nga n'okwatula bwe mwatwatulako akatono, nti ffe tuli kwenyumiriza kwammwe, era nga nammwe bwe muli gye tuli, ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.

15. Ne mu kusuubira kuno nnali njagala okujja gye muli edda, mulyoke muweebwe ekisa olw'okubiri;

16. n'okuyita gye muli okugenda e Makedoni, n'okuva nate e Makedoni okujja gye muli, n'okusibirirwa mmwe okugenda e Buyudaaya.

17. Kale bwe nnali njagala bwe ntyo, nnalagaalaganya? oba bye nteesa, mbiteesa kugoberera mubiri, nze okuba n'ebyo nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?

18. Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe ekiri eri mmwe si bwe kiti nti weewaawo ate nti si weewaawo.

19. Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye mwe muli weewaawo.

20. Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo: era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe.

21. Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda;

22. era eyatussaako akabonero, n'atuwa omusingo ogw'Omwoyo mu mitima gyaffe.

23. Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, nga kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira.

24. Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab'essanyu lyammwe: kubanga okukkiriza kwe kubayimiriza.

About 2 Abakkolinso Chapter 1

Read 2 Abakkolinso Chapter 1 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Abakkolinso in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Abakkolinso
Chapter: 1
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Abakkolinso. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Abakkolinso Chapter 1 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Abakkolinso Chapter 1?

2 Abakkolinso Chapter 1 is part of the Book of 2 Abakkolinso in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Abakkolinso Chapter 1 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-abakkolinso

  1. 2 Abakkolinso Chapter 8
  2. 2 Abakkolinso Chapter 6
  3. 2 Abakkolinso Chapter 11
  4. 2 Abakkolinso Chapter 12
  5. 2 Abakkolinso Chapter 10
  6. 2 Abakkolinso Chapter 9
  7. 2 Abakkolinso Chapter 7

Explore More from Endagaano Empya

  1. 1 Abasessaloniika Chapter 4
  2. Ebikolwa Chapter 17
  3. 1 Abasessaloniika Chapter 1
  4. Matayo Chapter 8
  5. Abaebbulaniya Chapter 10
  6. Lukka Chapter 7
  7. Yakobo Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. 1 Bassekabaka Chapter 3
  2. Yuda Chapter 1
  3. 2 Ebyomumirembe Chapter 18
  4. Nakumu Chapter 1
  5. Yeremiya Chapter 5
  6. Abaruumi Chapter 7
  7. Olubereberye Chapter 16
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *