Abaebbulaniya Chapter 10

For English

Read Abaebbulaniya Chapter 10 Online

Read Abaebbulaniya Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Abaebbulaniya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Abaebbulaniya 10

Essuula 10

1. Kubanga amateeka bwe galina ekisiikirize eky'ebirungi ebyali bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky'ebigambo, ne ssaddaaka ezitajjulukuka, ze bawaayo obutayosa buli mwaka buli mwaka; tebayinza ennaku zonna kutuukiriza abo abazisemberera.

2. Kubanga tezandirekeddwayo kuweebwayo kubanga abasinza bwe bamala okunaazibwa ddala omulundi ogumu tebandibadde na kwetegeerako bibi nate.

3. Naye mu ezo mulimu okujjukizanga ebibi buli mwaka buli mwaka.

4. Kubanga tekiyinzika omusaayi gw'ente ennume n'embuzi okuggyako ebibi.

5. Ng'ajja mu nsi, kyava ayogera nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo tewabyagala, Naye wanteekerateekera omubiri;

6. Tewasiima ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi;

7. Ne ndyoka njogera nti Laba nzize (Mu muzingo gw'ekitabo ekyampandiikwako) Okukola by'oyagala, ai Katonda.

8. Bw'ayogera waggulu nti Ssaddaaka n'ebiweebwayo n'ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala so tewabisiima (ebyo bye biweebwayo ng'amateeka bwe gali),

9. n'alyoka ayogera nti Laba, nzize okukola by'oyagala. Aggyawo eky'oubereberye, alyoke anyweze eky'okubiri.

10. Mu ebyo by'ayagala twatukuzibwa olw'okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.

11. Na buli kabona ayimirira buli lunaku ng'aweereza ng'awaayo emirundi emingi ssaddaaaka ezitajjulukuka, ezitayinza kugyako bibi emirembe gyonna:

12. naye oyo bwe yamala okuwaayo saddaaka emu olw'ebibi okutuusa mirembe gyonna, n'alyoka atuula mu mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;

13. ng'alindirira oluvannyuna abalabe be okufuusibwa entebe y'ebigere bye.

14. Kubanga olw'okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza okutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa.

15. Era n'Omwoyo Omutukuvu ye mujulirwa gye tuli: kubanga bw'amala okwogera nti

16. Eno ye ndagaano gye ndiragaana nabo Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, Era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika; n'alyoka ayogera nti

17. N'ebibi byabwe n'obujeemu bwabwe siribijjukira nate.

18. Naye awali okuggibwako ebyo, tewakyali kuwangayo ssaddaaka olw'ekibi.

19. Kale ab'oluganda, bwe tulina obugumu okuyingira mu kifo ekitukuvu olw'omusaayi gwa Yesu,

20. mu kkubo lye yatukubira, eriggya eddamu, eriyita mu ggigi, gwe mubiri gwe;

21. era bwe tulina kabona omunene afuga ennyumba ya Katonda;

22. tusemberenga n'omwoyo ogw'amazima olw'okukkiriza okutuukiridde, emitima gyaffe nga mansirwako okuggyamu omwoyo omubi, n'emibiri gyaffe nga ginaazibwa n'amazzi amalungi:

23. tunyweze okwatulanga essuubi lyaffe obutasagaasagana; kubanga eyasuubiza mwesigwa:

24. era tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n'ebikolwa ebirungi;

25. obutalekanga kukuŋŋaana wamu, ng'abalala bwe bayisa, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo bwe tutyo, nga bwe mulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka.

26. Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaddeeyo nate ssaddaaka olw'ebibi,

27. wabula okulindirira n'obuti omusango, n'obukambwe obw'omuliro ogugenda okwokya abalabe.

28. Anyooma amateeka ga Musa afa awatali kusaasirwa olw'abajulirwa ababiri oba basatu:

29. mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyenkana wa okusinga okuba okubi eyalinnyiririra ddala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaano ogwamutukuza obutaba mutukuvu, n'agirira ekyejo Omwoyo ow'ekisa?

30. Kubanga tumumanyi oyo eyayogera nti Eggwanga lyange, nze ndiwalana. Era nate nti Mukama alisalira omusango abantu be.

31. Kigambo kya ntiisa okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.

32. Naye mujjukire ennaku ez'edda, bwe mwamala okwakirwa, ze mwagumiikiririzaamu okufuba okunene okw'ebibonoobono;

33. olulala bwe mwafuuka ekyerolerwa olw'ebivume n'okulaba ennaku; olulala, bwe mwassa ekimu n'abo abaakolerwa ebyo.

34. Kubanga mwasaasira abasibe, era mwagumiikiriza n'essanyu okunyagibwako ebintu byammwe, nga mutegeera nga mulina mwekka ebintu ebisinga obulungi era eby'olubeerera.

35. Kale temusuulanga bugumu bwammwe, obuliko empeera ennene.

36. Kubanga mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukola Katonda by'ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa.

37. Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, Ajja alituuka, so talirwa.

38. Naye omutuukirivu wange aliba mulamu lwa kukkiriza: Era bw'addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira.

39. Naye ffe tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, naye tuli ba kukkiriza olw'okulokola obulamu.

About Abaebbulaniya Chapter 10

Read Abaebbulaniya Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Abaebbulaniya in the New Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Abaebbulaniya
Chapter: 10
Testament: New Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Abaebbulaniya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Abaebbulaniya Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Abaebbulaniya Chapter 10?

Abaebbulaniya Chapter 10 is part of the Book of Abaebbulaniya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Abaebbulaniya Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from abaebbulaniya

  1. Abaebbulaniya Chapter 3
  2. Abaebbulaniya Chapter 2
  3. Abaebbulaniya Chapter 5
  4. Abaebbulaniya Chapter 6
  5. Abaebbulaniya Chapter 4
  6. Abaebbulaniya Chapter 13
  7. Abaebbulaniya Chapter 12

Explore More from Endagaano Empya

  1. Matayo Chapter 13
  2. 1 Timoseewo Chapter 1
  3. 1 Yokaana Chapter 3
  4. 2 Peetero Chapter 3
  5. Yokaana Chapter 17
  6. Lukka Chapter 14
  7. Makko Chapter 14

Related Chapters & Readings

  1. Yoswa Chapter 9
  2. Yeremiya Chapter 6
  3. 2 Samwiri Chapter 8
  4. Isaaya Chapter 64
  5. Zabbuli Chapter 35
  6. Ebikolwa Chapter 26
  7. Okuva Chapter 11
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *