Danyeri Chapter 10

For English

Read Danyeri Chapter 10 Online

Read Danyeri Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Danyeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Danyeri and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Danyeri 10

Essuula 10

1. Mu mwaka ogw'okusatu ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi ekigambo kyabikkulirwa Danyeri, eyatuumibwa erinnya Berutesazza; n'ekigambo kyali kya mazima, ze ntalo ennene: n'ategeera ekigambo, n'ategeera bye yayolesebwa.

2. Mu nnaku ezo nze Danyeri namala sabbiiti ssatu ennamba nga ndi mu lumbe.

3. Saalyanga ku mmere ennungi, so n'ennyama newakubadde omwenge tebyayingiranga mu kamwa kange, so saasaabanga mafuta, ne mmalira ddala ssabbiiti ssatu ennamba.

4. Ne ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi ogw'olubereberye, bwe nnali ku mabbali g'omugga omunene, ye Kiddekeri,

5. ne nnyimusa amaaso gange, ne ntunula, era laba, omusajja ayambadde bafuta, nga yeesibye ekiwato kye ne zaabu ennungi eya Ufazi:

6. era n'omubiri gwe gwali nga berulo, n'obwenyi bwe ng'okumyansa bwe kufaanana, n'amaaso ge ng'ettabaaza z'omuliro, n'emikono gye n'ebigere bye byali ng'ekikomo ekizigule ebbala, n'eddoboozi ly'ebigambo bye ng'eddoboozi ery'ekibiina ekinene.

7. Nange Danyeri nalaba bye nnayolesebwa nze nzekka: kubanga abantu abaali nange tebaalaba bye nnayolesebwa: naye okukankana okunene ne kubagwako, ne badduka okwekweka.

8. Awo nze ne nsigala omu ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye nnayolesebwa, so ne mutasigala mu nze maanyi gonna: kubanga obulungi bwange ne bufuuka obuvundu mu nze, ne ssiba na maanyi nate.

9. Era naye ne mpulira eddoboozi ery'ebigambo bye: era bwe nnawulira eddoboozi ery'ebigambo bye nali nneebase otulo tungi nga nvuunamye amaaso gange, amaaso gange nga gatunuulira ettaka.

10. Era laba, omukono ne gunkwatako, ne gunfukamiza ku maviivi gange n'ebibatu by'engalo zange.

11. N'aŋŋamba nti Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, tegeera ebigambo bye nkugamba, weesimbe; kubanga eri ggwe gye ntumiddwa kaakano: era bwe yamala okuŋŋamba ekigambo ekyo, ne nnyimirira nga nkankana.

12. N'alyoka aŋŋamba nti Totya, Danyeri: kubanga okuva ku lunaku lwe wasookerako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, n'okwewombeeka mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa: nange nzize olw'ebigambo byo.

13. Naye omulangira ow'obwakabaka obw'e Buperusi n'anziyiza ennaku abiri mu lumu: naye, laba, Mikayiri, omu ku balangira abakulu, n'ajja okunnyamba: ne mbeera eyo wamu ne bakabaka ab'e Buperusi.

14. Kaakano nzize okukutegeeza ebiriba ku bantu bo mu nnaku ez'enkomerero: kubanga bye wayolesebwa bya nnaku ezikyali e wala nate.

15. Era bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nkutama amaaso gange, ne nsirika.

16. Era, laba, eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma hu mimwa gyange: ne ndyoka njasama akamwa kange, ne njogera, ne ŋŋamba oyo annyimiridde mu maaso gange nti Ai mukama wange, olw'ebyo bye nnayolesebwa ennaku zange ne zinziramu, ne siba na maanyi nate.

17. Kubanga omuddu wa mukama wange ono ayinza atya okwogera ne mukama wange ono? kubanga nze, amangu ago ne mutasigala mu nze maanyi gonna, so n'omukka gwonna ne gutabeera nate mu nze.

18. Eyali ng'ekifaananyi ky'omuntu n'alyoka ankomako nate, oyo n'ampa amaanyi.

19. N'ayogera nti Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya: emirembe gibeere gy'oli, beera n'amaanyi, weewaawo, beera n'amaanyi. Awo bwe yayogera nange, ne mpeebwa amaanyi, ne njogera nti Mukama wange ayogere: kubanga ompadde amaanyi.

20. N'alyoka ayogera nti Omanyi kyenvudde njija gy'oli? ne kaakano naddayo okulwana n'omulangira ow'e Buperusi : era bwe ndivaayo, laba, omulangira ow'e Buyonaani alijja.

21. Naye naakubuulira ebyawandiikibwa mu byawandiikibwa eby'amazima : so siwali ali ku luuyi lwange okulwanyisa abo, wabula Mikaeri, omulangira wammwe.

About Danyeri Chapter 10

Read Danyeri Chapter 10 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Danyeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Danyeri
Chapter: 10
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Danyeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Danyeri Chapter 10 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Danyeri Chapter 10?

Danyeri Chapter 10 is part of the Book of Danyeri in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Danyeri Chapter 10 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from danyeri

  1. Danyeri Chapter 3
  2. Danyeri Chapter 4
  3. Danyeri Chapter 12
  4. Danyeri Chapter 8
  5. Danyeri Chapter 7
  6. Danyeri Chapter 6
  7. Danyeri Chapter 11

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Ezekyeri Chapter 8
  2. Ekyamateeka Chapter 8
  3. Yoswa Chapter 5
  4. Ezekyeri Chapter 43
  5. Zabbuli Chapter 114
  6. Zabbuli Chapter 79
  7. Isaaya Chapter 14

Related Chapters & Readings

  1. Ekyamateeka Chapter 17
  2. Abaggalatiya Chapter 5
  3. 1 Samwiri Chapter 29
  4. Mikka Chapter 3
  5. 1 Samwiri Chapter 21
  6. Zabbuli Chapter 54
  7. Okuva Chapter 10
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *