2 Bassekabaka Chapter 13

For English

Read 2 Bassekabaka Chapter 13 Online

Read 2 Bassekabaka Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of 2 Bassekabaka and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

2 Bassekabaka 13

Essuula 13

1. Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya n'afugira emyaka kkumi na musanvu.

2. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri; teyabivaamu.

3. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Isiraeri, n'ebagabula mu mukono gwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ennaku zonna.

4. Awo Yekoyakaazi n'amwegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira: kubanga yalaba okujoogebwa kwa Isiraeri kabaka w'e Busuuli bwe yabajooga.

5. (Awo Mukama n'awa Isiraeri omulokozi n'okuva ne bava wansi w'omukono gw'Abasuuli: abaana ba Isiraeri ne babeera mu weema zaabwe ng'olubereberye.

6. Naye ne batava mu bibi by'ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri, naye ne batambulira omwo: ne Baasera ne basigala mu Samaliya.)

7. Kubanga teyalekera Yekoyakaazi ku bantu wabula abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano n'amagaali kkumi n'abatambula n'ebigere kakumi; kubanga kabaka w'e Busuuli yabazikiriza, n'abafuula ng'enfuufu ey'omu gguuliro.

8. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakaazi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?

9. Yekoyakaazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika mu Samaliya: Yowaasi mutabani we n'afuga mu kifo kye.

10. Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga.

11. N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri: naye n'atambulira omwo.

12. Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge ge yalwanyisa ne Amaziya kabaka wa Yuda tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?

13. Yowaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Yerobowaamu n'atuula ku ntebe ye: Yowaasi n'aziikirwa mu Samaliya wamu ne bassekabaka ba Isiraeri.

14. Awo Erisa yali alwadde endwadde ye eyamutta: Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'aserengeta gy'ali n'amukaabira amaziga n'ayogera nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'abasajja be abeebagala embalaasi!

15. Erisa n'amugamba nti Ddira omutego n'obusaale: n’addira omutego n'obusaale.

16. N'agamba kabaka wa Isiraeri nti Teeka omukono gwo ku mutego: n'aguteekako omukono. Erisa n'ateeka emikono gye ku mikono gya kabaka.

17. N'ayogera nti Ggulawo eddirisa ery'ebuvanjuba: n'aliggulawo. Awo Erisa n'ayogera nti Lasa: n'alasa. N'ayogera nti Akasaale ka Mukama ak'obulokozi, ke kasaale ak'obulokozi eri Obusuuli: kubanga olikuba Abasuuli mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo.

18. N'ayogera nti Ddira obusaale: n'abuddira. N'agamba kabaka wa Isiraeri nti Kuba ku ttaka: n'akuba emirundi esatu n'alekera awo.

19. Omusajja wa Katonda n'amusunguwalira n'ayogera nti Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga; kale wandikubye Obusuuli okutuusa lwe wandibuzikirizza: naye kaakano olikuba Obusuuli emirundi esatu gyokka.

20. Awo Erisa n'afa ne bamuziika. Era ebibiina by'Abamowaabu ne bazindanga ensi omwaka bwe gwayingiranga.

21. Awo olwatuuka bwe baali nga baziika omusajja, kale, laba, ne balaba ekibiina; ne basuula omusajja mu ntaana ya Erisa: awo omusajja nga kyajje akome ku magumba ga Erisa, n'alamuka n'ayimirira n'ebigere.

22. Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajoogera Isiraeri emirembe gyonna egya Yekoyakaazi.

23. Naye Mukama n'abakwatirwa ekisa n'abasaasira n'assaayo omwoyo eri bo, olw'endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu biro ebyo.

24. Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'afa; Benikadadi mutabani we n'afuga mu kifo kye.

25. Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukono gwa Yekoyakaazi kitaawe ng'alwana. Yowaasi n'amukuba emirundi esatu, n'akomyawo ebibuga bya Isiraeri.

About 2 Bassekabaka Chapter 13

Read 2 Bassekabaka Chapter 13 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: 2 Bassekabaka
Chapter: 13
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading 2 Bassekabaka. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading 2 Bassekabaka Chapter 13 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is 2 Bassekabaka Chapter 13?

2 Bassekabaka Chapter 13 is part of the Book of 2 Bassekabaka in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete 2 Bassekabaka Chapter 13 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from 2-bassekabaka

  1. 2 Bassekabaka Chapter 10
  2. 2 Bassekabaka Chapter 18
  3. 2 Bassekabaka Chapter 7
  4. 2 Bassekabaka Chapter 5
  5. 2 Bassekabaka Chapter 17
  6. 2 Bassekabaka Chapter 14
  7. 2 Bassekabaka Chapter 25

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. 1 Samwiri Chapter 26
  2. 1 Ebyomumirembe Chapter 8
  3. Engero Chapter 6
  4. Ezekyeri Chapter 46
  5. Eseza Chapter 4
  6. Obadiya Chapter 1
  7. Isaaya Chapter 66

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 45
  2. Zabbuli Chapter 17
  3. Okubikkulirwa Chapter 16
  4. Danyeri Chapter 2
  5. Tito Chapter 1
  6. 2 Samwiri Chapter 23
  7. Olubereberye Chapter 20
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *