Ebyabaleevi Chapter 9

For English

Read Ebyabaleevi Chapter 9 Online

Read Ebyabaleevi Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebyabaleevi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ebyabaleevi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ebyabaleevi 9

Essuula 9

1. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri;

2. n'agamba Alooni nti Weetwalire ennyana ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ezitaliiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama.

3. Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, ezaakamaze omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;

4. n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta: kubanga leero Mukama anaabalabikira.

5. Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama.

6. Musa n'ayogera nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira mukikole: n'ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira.

7. Musa n'agamba Alooni nti Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.

8. Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe.

9. Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi: n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto,

10. naye amasavu n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera ku kyoto; nga Mukama bwe yalagira Musa.

11. N'ennyama n'eddiba n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira.

12. N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.

13. Ne bamuleetera ekiweebwayo ekyokebwa, ebitundu ebitundu kinnakimu, n'omutwe: n'abyokera ku kyoto.

14. N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.

15. N'aleeta ekitone eky'abantu, n'addira embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi ekyali ku bw'abantu, n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga n'eyolubereberye.

16. N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali.

17. N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako okujjuza olubatu lwe, n'agyokera ku kyoto, era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya.

18. Era n'atta ente n'endiga ennume, ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, eyali ku bw'abantu: abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna,

19. n'amasavu g'ente: ne ku ndiga omukira ogwa ssava, n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba:

20. amasavu ne bagateeka ku bifuba n'ayokera amasavu ku kyoto:

21. n'ebifuba n'ekisambi ekya ddyo Alooni n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; nga Musa bw'alagidde.

22. Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amaze okuwaayo ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.

23. Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.

24. Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu: awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu ne bavuunama amaaso gaabwe.

About Ebyabaleevi Chapter 9

Read Ebyabaleevi Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ebyabaleevi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ebyabaleevi
Chapter: 9
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ebyabaleevi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ebyabaleevi Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ebyabaleevi Chapter 9?

Ebyabaleevi Chapter 9 is part of the Book of Ebyabaleevi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ebyabaleevi Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from ebyabaleevi

  1. Ebyabaleevi Chapter 18
  2. Ebyabaleevi Chapter 12
  3. Ebyabaleevi Chapter 16
  4. Ebyabaleevi Chapter 2
  5. Ebyabaleevi Chapter 1
  6. Ebyabaleevi Chapter 20
  7. Ebyabaleevi Chapter 8

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. 2 Bassekabaka Chapter 22
  2. Yobu Chapter 16
  3. Omubuulizi Chapter 12
  4. Koseya Chapter 6
  5. Zekkaliya Chapter 10
  6. Okubala Chapter 15
  7. Yobu Chapter 42

Related Chapters & Readings

  1. Okubala Chapter 5
  2. 1 Samwiri Chapter 4
  3. 1 Samwiri Chapter 8
  4. Ezera Chapter 10
  5. 2 Bassekabaka Chapter 10
  6. Yeremiya Chapter 34
  7. Okuva Chapter 16
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *