Zekkaliya Chapter 9

For English

Read Zekkaliya Chapter 9 Online

Read Zekkaliya Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Zekkaliya and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Zekkaliya 9

Essuula 9

1. Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummula kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri: liri eri Mukama;

2. era ne Kamasi ekiriraanye nakyo: Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo.

3. Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu ennungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.

4. Laba, Mukama alikigoba mu byakyo, alikuba amaanyi gaakyo ku nnyanja; era kiryokebwa omuliro.

5. Asukulooni kiriraba kiritya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula nu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu.

6. Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era Abafirisuuti ndibaloga amalala.

7. Era ndiggyamu omusaayi mu kamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukungu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi.

8. Nange naasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange.

9. Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy'oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n'akayana omwana gw'endogoyi.

10. Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.

11. Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, nziyeemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi.

12. Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira: nti ndikuddiza emirundi ebiri.

13. Kubanga nneewetedde Yuda: omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyita abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira.

14. Era Mukama alirabika waggulu gye bali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiika obwa ddyo.

15. Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ng'ensonda ez'ekyoto.

16. Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye.

17. Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavukuba, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala.

About Zekkaliya Chapter 9

Read Zekkaliya Chapter 9 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Zekkaliya in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Zekkaliya
Chapter: 9
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Zekkaliya. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Zekkaliya Chapter 9 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Zekkaliya Chapter 9?

Zekkaliya Chapter 9 is part of the Book of Zekkaliya in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Zekkaliya Chapter 9 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 23
  2. Engero Chapter 17
  3. Engero Chapter 16
  4. Engero Chapter 12
  5. Engero Chapter 28
  6. Engero Chapter 25
  7. Engero Chapter 19

Explore More from zekkaliya

  1. Zekkaliya Chapter 10
  2. Zekkaliya Chapter 12
  3. Zekkaliya Chapter 7
  4. Zekkaliya Chapter 3
  5. Zekkaliya Chapter 2
  6. Zekkaliya Chapter 11
  7. Zekkaliya Chapter 5

Related Chapters & Readings

  1. Yobu Chapter 4
  2. Danyeri Chapter 12
  3. Yoswa Chapter 15
  4. Zabbuli Chapter 81
  5. Okubala Chapter 14
  6. Okubikkulirwa Chapter 7
  7. 1 Ebyomumirembe Chapter 20
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *