Ekyabalamuzi Chapter 15

For English

Read Ekyabalamuzi Chapter 15 Online

Read Ekyabalamuzi Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ekyabalamuzi and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ekyabalamuzi 15

Essuula 15

1. Naye olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, nga bakungula eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we ng'alina omwana gw'embuzi; n'ayogera nti Naayingira eri mukazi wange mu nju. Naye kitaawe n'atamuganya kuyingira.

2. Kitaawe n'agamba nti Mazima mbadde ndowooza nga wamukyayira ddala; kyennava muwa munno: muganda we omuto tamusinga bulungi? nkwegayiridde, mutwale mu kifo kye.

3. Samusooni n'abagamba nti Omulundi guno ndiba nga siriiko musango eri Abafirisuuti, bwe ndibakolera akabi.

4. Samusooni n'agenda n'akwata ebibe ebikumi bisatu, n'addira ebitawuliro, n'abikwataganya emikira, n'ateeka ekitawuliro wakati w'emikira kinneebirye.

5. Awo bwe yamala okukoleeza ebitawuliro, n'abita okugenda mu ŋŋaano eri mu nnimiro ey'Abafirisuuti, n'ayokya ebinywa era n'eŋŋaano eri mu nnimiro, era n'ensuku z'emizeyituuni.

6. Awo Abafirisuuti ne balyoka boogera nti Akoze bw'atyo ye ani? Ne boogera nti Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yatwala mukazi we n'amuwa munne. Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro.

7. Samusooni n'abagamba nti Bwe mukola bwe mutyo, sirirema kubawalanako ggwanga, ne ndyoka ndekera awo.

8. N'abattira ddala nnyo nnyini bangi nnyo: n'aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu.

9. Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bayanjaala mu Leki.

10. Abasajja ba Yuda ne boogera nti Kiki ekibayambusizza okulwana naffe? Ne boogera nti Twambuse okusiba Samusooni, okumukola nga bwe yatukola ffe.

11. Awo abasajja enkumi ssatu aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti Tomanyi nga Abafirisuuti batufuga? kale kino kiki kye watukola? N'abagamba nti Bo nga bwe bankola, nange bwe nnabakola.

12. Ne bamugamba nti Tuserengese okukusiba, tukugabule mu mukono gw'Abafirisuuti. Samusooni n'abagamba nti Mundayirire obutangwako mmwe bennyini.

13. Ne boogera naye nga bagamba nti Nedda; naye tunaakusibira ddala, ne tukugabula mu mukono gwabwe: naye mazima tetuukutte. Ne bamusibya emigwa ebiri emiggya, ne bamulinnyisa okuva mu jjinja.

14. Bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne boogerera waggulu bwe baasisinkana naye: omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'emigwa egyali ku mikono gye ne gifuuka ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro, ebyali bimusibye ne biva ku mikono gye.

15. N'alaba oluba lw'endogoyi olubisi, n'agolola omukono gwe, n'aluddira, n'alussa abasajja lukumi.

16. Samusooni n’ayogera nti Oluba lw'endogoyi, entuumo n'entuumo, Oluba lw'endogoyi lwe nzisizza abasajja olukumi.

17. Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula oluba okuva mu ngalo ze; ekifo ekyo ne kiyitibwa Lamasuleki:

18. Ennyonta n'emuluma nnyo, n'akaabira Mukama, n’ayogera nti Otuwadde okulokoka kuno okunene n'omukono gw'omuddu wo: ne kaakano ennyonta enenzita, ne ngwa mu mukono gw'abatali bakomole.

19. Naye Katonda n'ayasa ekinnya ekiri mu Leki, amazzi ne gavaamu; awo bwe yamala okunywa, omwoyo gwe ne gumuddamu, n'alamuka: kyerwava lutuumibwa erinnya Enkakkole, oluli mu Leki, okutuusa leero.

20. N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu nnaku z'Abafiiisuuti.

About Ekyabalamuzi Chapter 15

Read Ekyabalamuzi Chapter 15 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ekyabalamuzi
Chapter: 15
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ekyabalamuzi. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ekyabalamuzi Chapter 15 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ekyabalamuzi Chapter 15?

Ekyabalamuzi Chapter 15 is part of the Book of Ekyabalamuzi in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ekyabalamuzi Chapter 15 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from ekyabalamuzi

  1. Ekyabalamuzi Chapter 5
  2. Ekyabalamuzi Chapter 2
  3. Ekyabalamuzi Chapter 14
  4. Ekyabalamuzi Chapter 12
  5. Ekyabalamuzi Chapter 11
  6. Ekyabalamuzi Chapter 1
  7. Ekyabalamuzi Chapter 9

Explore More from Endagaano Enkadde

  1. Zabbuli Chapter 118
  2. Yeremiya Chapter 10
  3. 2 Samwiri Chapter 18
  4. Nekkemiya Chapter 10
  5. Ezekyeri Chapter 48
  6. Yona Chapter 1
  7. Danyeri Chapter 9

Related Chapters & Readings

  1. Zabbuli Chapter 130
  2. Malaki Chapter 4
  3. Lukka Chapter 10
  4. Nekkemiya Chapter 1
  5. Okubikkulirwa Chapter 13
  6. 2 Samwiri Chapter 14
  7. 2 Bassekabaka Chapter 14
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *