Ezera Chapter 4

For English

Read Ezera Chapter 4 Online

Read Ezera Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezera in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Ezera and the Holy Bible online.

Choose a Chapter

Ezera 4

Essuula 4

1. Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng'abaana b'obusibe bazimbira yeekaalu Mukama Katonda wa Isiraeri;

2. ne balyoka basemberera Zerubbaberi, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne babagamba nti Ka tuzimbire wamu nammwe: kubanga tunoonya Katonda wammwe era nga nammwe; era tuwaayo ssaddaaka eri ye okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w'e Bwasuli eyatulinnyisa wano.

3. Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti Temulina kigambo naffe okuzimba ennyumba eri Katonda waffe; naye ffe fekka wamu tulizimba eri Mukama Katonda wa Isiraeri nga kabaka Kuulo Kabaka w'e Buperusi bwe yatulagira.

4. Awo abantu ab'omu nsi ne banafuya emikono gy'abantu ba Yuda ne babateganya mu kuzimba,

5. ne bagulirira ab'okusala amagezi okubaziyiza okutta okuteesa kwabwe emirembe gyonna egya Kuulo kabaka w'e Buperusi okutuusa Daliyo kabaka w'e Buperusi lwe yalya obwakabaka.

6. Ne ku mirembe gya Akaswero nga kyajje alye obwakabaka ne bawandiika okuloopa abaali mu Yuda ne Yerusaalemi.

7. Ku mirembe gya Alutagizerugizi Bisulamu n'awandiika ne Misuledasi ne Tabeeri ne banne abalala eri Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi: era ebbaluwa yawandiikirwa mu nnukuta ez'e Kisuuli, ne mu lulimi Olusuuli.

8. Lekumu ow’essaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiika ebbaluwa eri Alutagizerugizi kabaka okuloopa Yerusaalemi bwe bati:

9. awo Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala ne bawandiika; Abadinayi n'Abafalasasuki n'Abataluperi n'Abafalusi n'Abalukevi n'Abababulooni n'Abasusanuki n'Abadekayi n'Abaweramu,

10. n’amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow'ekitiibwa ge yasomosa n'ateeka mu kibuga ky'e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga, n'ebirala bwe bityo.

11. Ebbaluwa eno eggiddwa mu bbaluwa gye baaweereza Alutagizerugizi kabaka; Abaddu bo abasajja abali emitala w'omugga n'ebirala bwe bityo.

12. Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy'oli ne bambuka batuuse gye tuli e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi.

13. Kabaka nno ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, newakubadde empooza, kale enkomerero bakabaka balifiirwa.

14. Kale kubanga tulya omunnyo ogw'omu lubiri, so tetugwana kulaba kabaka ng'anyoomebwa, kyetwava tutuma ne tutegeeza kabaka;

15. banoonye mu kitabo eky'okujjukiza ekya bajjajjaabo: bw'otyo bw'olisanga mu kitabo eky'okujjukiza, n'otegeera ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era nga kyonoona bakabaka n'amasaza era nga baajeemyanga abantu mu ekyo mu biro eby'edda: ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa.

16. Tutegeeza kabaka, ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga olw'ekyo toliba na kitundu emitala w'omugga.

17. Awo kabaka n'atumira Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga n'addamu nti Emirembe n'ebirala bwe bityo.

18. Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera.

19. Ne nteeka etteeka, ne banoonya, era balabye ng'ekibuga ekyo okuva mu biro eby'edda kyasaliranga bakabaka enkwe, n'obujeemu n'ekyejo byakolerwanga omwo.

20. Era waabangawo bakabaka ab'amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w'omugga: era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza.

21. Muteeke nno etteeka abasajja bano balekere awo, ekibuga ekyo kireme okuzimbibwa okutuusa lwe nditeeka etteeka eddala.

22. Era mwekuume muleme okutenguwa mu kino: akabi kandikulidde ki bakabaka ne bafiirwa?

23. Awo ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa ya kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n'amaanyi n'amawaggali.

24. Awo omulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi ne gulekebwayo; gwalekebwayo okutuusa omwaka ogw'okubiri ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka We Buperusi.

About Ezera Chapter 4

Read Ezera Chapter 4 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Ezera in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.

Book Information

Book: Ezera
Chapter: 4
Testament: Old Testament

How to Read this Chapter

Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Ezera. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.

https://www.youtube.com/watch?v=rzsT_Q3KLzE

More Resources

Continue Reading the Bible

Continue reading Ezera Chapter 4 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.

Frequently Asked Questions

What is Ezera Chapter 4?

Ezera Chapter 4 is part of the Book of Ezera in the Holy Bible.

Can I read this chapter online?

Yes. You can read the complete Ezera Chapter 4 online for free with easy chapter navigation.

More Chapters from Endagaano Enkadde

  1. Engero Chapter 25
  2. Engero Chapter 19
  3. Engero Chapter 23
  4. Engero Chapter 17
  5. Engero Chapter 12
  6. Engero Chapter 22
  7. Engero Chapter 16

Explore More from ezera

  1. Ezera Chapter 3
  2. Ezera Chapter 8
  3. Ezera Chapter 6
  4. Ezera Chapter 9
  5. Ezera Chapter 2
  6. Ezera Chapter 7
  7. Ezera Chapter 1

Related Chapters & Readings

  1. Yeremiya Chapter 8
  2. Okubikkulirwa Chapter 22
  3. Ekyamateeka Chapter 16
  4. Yeremiya Chapter 18
  5. Abaruumi Chapter 1
  6. Zabbuli Chapter 101
  7. Lukka Chapter 12
Share Your Love

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *