Read Yoweeri Chapter 3 Online
Read Yoweeri Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoweeri in the Old Testament. Browse every verse with easy chapter navigation, continue to the next chapter, or explore the complete Book of Yoweeri and the Holy Bible online.
Choose a Chapter
Yoweeri 3
Essuula 3
1. Kubanga, laba, mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bwe ndikomyawo obusibe bwa Yuda ne Yerusaalemi,
2. ndikuŋŋaanya amawanga gonna ne mbaserengesa mu kiwonvu kya Yekosaffaati; kale ndiyima eyo ne mpolereza abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaanyirizza mu mawanga ne bagabana ensi yange.
3. Era bakubidde abantu bange obululu: era bawaddeyo omulenzi olw'omukazi omwenzi, ne batunda omuwala olw'omwenge, balyoke banywe.
4. Weewaawo, nammwe nfaayo ki eri mmwe, mmwe Ttuulo ne Sidoni n'enjuyi zonna ez'Obufirisuuti? Mulinsasula? n'okusasula bwe muliba nga munsasudde, ndyanguya mangu ndisambyako okuzza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe.
5. Kubanga mututte effeeza yange ne zaabu yange, ne mutwala mu biggwa byammwe ebintu byange ebirungi ebisanyusa;
6. era abaana ba Yuda n'abaana ba Yerusaalemi mwabaguza abaana b'Abayonaani, mubajjulule okubatwala ewala n'ensalo yaabwe:
7. laba, ndibagolokosa mu kifo gye mwabatunda, era ndizza okusasula kwammwe ku mutwe gwammwe mmwe:
8. era nditunda batabani bammwe ne bawala bammwe mu mukono gw'abaana ba Yuda, n'abo balibaguza abasajja ab’e Seba, eggwanga eriri ewala: kubanga Mukama ye akyogedde.
9. Mulangirire kino mu mawanga; mutegeke obulwa: mugolokose abasajja ab'amaanyi: abasajja bonna abalwanyi basembere, bambuke.
10. Muweese enkumbi zammwe okuba ebitala, n'ebiwabyo byammwe okuba amafumu: omunafu ayogere nti Ndi wa maanyi.
11. Mwanguwe mujje, mmwe mwenna amawanga ageetoolodde mukuŋŋaane: serengesa eyo ababo ab'amaanyi, ai Mukama:
12. Amawanga gayimuke gambuke mu kiwonvu kya Yekosaffaati: kubanga eyo gye ndituula okusala omusango gw'amawanga gonna ageetoolodde.
13. Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde: mujje musambe; kubanga essogolero lijjudde, amabanvu gayiika; kubanga obubi bwabwe bungi.
14. Oluggube, oluggube, oluggube lw'abantu bali mu kiwonvu eky'okumaliririramu! kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu eky'okumaliririramu.
15. Enjuba n'omwezi biriko ekizikiza, n'emmunyeenye zirekayo okwaka kwazo.
16. Awo Mukama aliwuluguma ng'ayima e Sayuuni, alireeta eddoboozi lye ng'ayima e Yerusaalemi; n'eggulu n'ensi birikankana: naye Mukama aliba buddukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri.
17. Bwe mutyo mulimanya nga nze ndi Mukama Katonda wammwe, abeera ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu: kale Yerusaalemi kiriba kitukuvu so tewaliba bannaggwanga abalikiyitamu nate.
18. Awo olulituuka ku lunaku luli ensozi ziritonnya omwenge omuwoomerevu n'obusozi bulikulukuta amata, n'obugga bwonna obwa Yuda bulikulukuta amazzi; era oluzzi luliva mu nnyumba ya Mukama, lulifukirira ekiwonvu Sittimu.
19. Misiri eriba matongo, ne Edomu eriba ddungu eryalekebwawo, olw'ekyejo ekyagirirwa abaana ba Yuda, kubanga bayiye omusaayi ogutaliiko musango mu nsi yaabwe.
20. Naye Yuda alibeerera ennaku zonna, ne Yerusaalemi okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonna.
21. Era ndirongoosa omusaayi gwabwe gwe ssaalongoosa: kubanga Mukama abeera ku Sayuuni.
About Yoweeri Chapter 3
Read Yoweeri Chapter 3 online from the Holy Bible. This chapter is part of the Book of Yoweeri in the Old Testament. Continue reading with the chapter navigation above or explore the complete book.
Book Information
Book: Yoweeri
Chapter: 3
Testament: Old Testament
How to Read this Chapter
Use the Previous and Next Chapter buttons to continue reading Yoweeri. You can also adjust the font size for comfortable reading and browse other books of the Bible using the navigation links.
More Resources
Continue Reading the Bible
Continue reading Yoweeri Chapter 3 and explore every book, chapter and verse of the Holy Bible. Use the navigation links above and below to move through the Scriptures with ease.
Frequently Asked Questions
What is Yoweeri Chapter 3?
Yoweeri Chapter 3 is part of the Book of Yoweeri in the Holy Bible.
Can I read this chapter online?
Yes. You can read the complete Yoweeri Chapter 3 online for free with easy chapter navigation.
More Chapters from Endagaano Enkadde
- Engero Chapter 23
- Engero Chapter 17
- Engero Chapter 16
- Engero Chapter 12
- Engero Chapter 28
- Engero Chapter 25
- Engero Chapter 19